
Omulangira Kassim Nakibinge ng’ayogera eri Abasiraamu e Mityana.
Jjajja w'Obusiraamu omulangira Kassimu Nakibinge avumiridde engeri abeebyokwerinda gye bakuttemu amateeka ne batuuka n'okutta Ssebulime gwe baabadde bamaze okukwata.
Yabadde ku mukolo, akulira Abasiraamu e Mityana Sheikh Ali Kasaliko kwe yeebabazza Katonda okuweza emyaka 10 ng'aweereza.
Nakibinge yasabye abeebyokwerinda okubeera n'ekisa ku mirimu gyabwe abantu babakwate n'obwegendereza nga nabo bwe baagala okubayisa.