TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Agambibwa okuwamba yiika z'ettaka 130 famire emututte mu kakiiko

Agambibwa okuwamba yiika z'ettaka 130 famire emututte mu kakiiko

Added 1st April 2019

Agambibwa okuwamba yiika z'ettaka 130 famire emututte mu kakiiko

FAMIRE esituse ne yeekubira enduulu mu kakiiko akabuuliriza ku mivuyo gy'ettaka kabataase ku musuubuzi w'ettaka Ruta Ngambwa owa Prime Housing Estates Ltd, eyababbako yiika 130 e Kayunga Bugerere.

Joshua Kamulegeya yeeyakulembeddemu bakitaatabe ne bagenda mu kakiiko ng'alumiriza Ruta okukolagana n'abamu ku bassengabe ne batunda ettaka okuli n'eryebiggya.

Ettaka lino lisangibwa Kayunga mu Bugerere mu bitundu eby'enjawulo.
Kamulegeya yategeezezza akakiiko nti ettaka lyali lya mugenzi George William Kibalama. Waliwo eriri ku bulooka 48 plot 8, polot 126, bulooka 56 poloti 1 eyali e Ntooke nga kwekuli ebiggya naye Ruta yamenya ennyumba eyaliwo n'agobako n'abantu.

Bulooka 48 poloti 8 baagisalako yiika 154 liriko faamu egambibwa nti ya Moses Byaruhanga omuwabuzi wa pulezidenti kyokka bwe bagenda okukebera ettaka liri mu mannya ga Dan Bahingire.

Kamulegeya alumiriza nti ettaka lino lijja liyita mu mikono egy;enjawulo n'okujingirira ebiwandiiko basobole okukyusa obwannannyini. Alumiriza Samuel Kibalama sentebe wa LCI e Najjeera nti yekobaana ne Ruta okujinga ebiwandiiko ebimu nga bali ne basengabe.

Kibalama mutabani w'omugenzi Sekotooleko eyali ow'oluganda ne George William Kibalama. Ono yakwatagana ne Ruta, Solome Nakayiga, David Maluge ne bajinga ebiwandiiko ebibawa obuyinza ku ttaka lino. Ebimu ku biwandiiko by'alumiriza nti baajinga kuliko ebbaluwa eyava ewa Administrator Geral, ebiwandiiko bya kkooti ebibakkiriza okufuna ‘letters' of Administration'.

Agamba nti ekyabewuunyisa abooluganda baakwata ebyapa n'ebiwandiiko ebirala ne babiteresa Samuel Kibalama ow'e Najeera kyokka baalabira awo ng'akozesa Keneth Lubwama eyeeyita muganda wabwe n'atunda gwe balumiriza nti tebamulinaako luganda nga bbo ab'eddira ekima.


Yagambye nti tebaakoma awo, baajinga ebbaluwa ya sentebe wa LCI e Ntooke ng'ebanjula mu kkooti ng'abooluganda lw'omugenzi abatuufu abava ku bulooka 166 ettaka okuli ebiggya kyokka bwe batuuka ewa sente w'ekyalo Yusuf Sewaya n'abegaana era yagenda okulaga ebiwandiiko nga biraga nti ebbaluwa gye baakozesa yali njinge.


Wano weyasinziira okubaggulako omusango mu kkooti ogw'okujingirira ebiwandiiko era gugend akuwulirwa mu kkooti ku Lwokutaano lwa wiiki eno.
Ruta azze awerennemba n'emisango egy'enjawulo mu kakiiko nga yasooka n'abooluganda lw'omugenzi Krespo Kizito ow'emu Buso e Gayaza abalumiriza nti yabasuubiza okubakolera ku ttaka lyabwe eriweza mayiro 3 abafunire ebiwandiiko kyokka n'abawa obukwakkulizo nti buli gw'akolerako ne litereera amusalako yiika 12. Eggulo Harriet Namukasa yabadde mu Kakiiko ng'akannyonnyola ebyaliwo.


Emirundi egyasooka Ruta baamuleeta mu kakiiko ku nsonga z'ettaka okuva mu bitundu ebirala ne bamutuma ebiwandiiko n'atandika okwebulankanya ekyaviirako Omulamuzi Bamugemereire okuyisa ekiragiro ne bamukwata ne bamuleeta mu kakiiko ng'ava mu kaduukulu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...