TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abantu abasoba 200 bakebeddwa obulwadde bwa nnalubiri

Abantu abasoba 200 bakebeddwa obulwadde bwa nnalubiri

Added 1st April 2019

Abantu abasoba 200 bakebeddwa obulwadde bwa nnalubiri

ABANTU 200 bebakebeddwa obulwadde bwa nnalubiri olunaku lw'eggulo famire neziweebwa amagezi okwesitula zonna okujja okukeberebwa obulwadde buno n'okuweebwa amagezi ku ngeri gyebayinza okubwewalamu.
 
Omwami w'essaza lya Kabaka ery'e Busiro, Ssebwana Charles Kiberu Kisiriza bweyabadde yekebeza wamu ne muwala we yebazizza Kabaka olw'okuteekawo enteekateeka y'okukebera abantu ku bwereere era naalaga essuubi nti abekebeza bajja kwongera okuwa abalala obukakafu nti obulwadde buno si ddogo wabula bulwadde bwa mu musaayi era tebulogebwa!
 
" Enteekateeka eno nnungi ddala. Ebbanga ddene abantu bayitanga obulwadde buno eddogo naye kirungi olw'okulafubana kwa Kabaka, bakitegedde nti omuntu azaalibwa nabwo. Kino kijja kuyamba eggwanga lyaffe okufuna omujijji ogutalina bulwadde buno obw'omutawaana.

Famire zisanye zesituule wiiki eno zijje e Bulange zikeberebwe," Ssebwana Kisirizza bweyayogedde ku nteekateeka eno egenda okumala wiiki nnamba.

Yayongedde naakubiriza abaami b'amasaza yonna gyebali okukunga abantu baabwe okujja okutwala omukisa gw'okwekebeza obulwadde ate nga April 7,2019 betabe mu misinde gy'okukuza amazaalibwa ga Kabaka.
 
Mu kwogerako n'abantu abaakebeddwa,Brasio Kaboggoza nga yakuliddemu okukebera abantu obulwadde bwa nnalubiri yabawadde amagezi nti bebasanze n'obutoffaali obulimu obulwadde, tekitegeeza nti y'enkomerero y'ensi wabula balina kutwala magezi agabaweebwa abasawo n'okwerabirira.
 
"Bwobeera okebeddwa ng'olinamu akatofaali aka nnalubiri kati awo many anti gwe atanafumbirwa, olina okukola okusalawo okusingayo ng'ofuna omwagalwa atalina bulwadde buno.
 
Awo mujja kuzaala abaana abalamu kyokka bwokemebwa notakebeza mwagalwa, kimanye mujja kuzaala abaana abajja okubeera nga buli kiseera babalwalirira. Ekyo manya wetaaga okubeera n'ensimbi eziwera okubayimirizaawo," Kaboggoza bweyagambye.

Omulwadde wa nnalubiri (sikosero) alina mu bintu bingi mu bulamu okuli okunywa liita z'amazzi ezitakka wansi wa ssatu buli lunaku, okumira eddagala eriyitibwa fansida buli mwezi okwewala omusujja gw'ensiri saako n'okumira akakerenda omuli ‘Vitamin' kamu buli lunaku nga bino byonna omusawo yalina okubikulagirira.

 
Kaboggoza yalaze obwenyamivu olw'abantu abamu abatayagala kwekebeza bulwadde buno nga bagamba nti eddiini yaabwe tebakkiriza, ekintu kyagamba nti kyabulabe ng'abakulembeze b'eddiini zino balina okukiyingiramu nga bawa abagoberezi baabwe amagezi amatuufu.
 
Abayizi okuva mu Maria Salome Leadership Training Institute nga bakulembeddwamu amyuka omukulu w'ettendekero lino, Wasswa Kimbowa bebamu ku basoose okwekebeza era yategezezza nti baalese abayizi bano babakebeze bamanye bwebayimiridde kubanga bebafumbo ab'enkya nga balina okumanya bwebanateekateeka amaka gaabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...