TOP

Bobi Wine akyadde gye baasibira Mandela

Added 2nd April 2019

Bannayuganda e South Africa balaze Bobi omukwano nga bakulembeddwamu Medie Moore bamututte okulambula ekkomera gye baasibira Nelson Mandela

 Bobi Wine ow'okuna ku kkono(mu bayimiridde) n'abamu ku bawagizi be ku kkomera

Bobi Wine ow'okuna ku kkono(mu bayimiridde) n'abamu ku bawagizi be ku kkomera

Omubaka Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) agenze mukkomera ly'oku kizinga Robben Island gye baasibira omugenzi Nelson Mandela nategeeza nti okutuuka mu kifo kino kimwongedde amaanyi n'obuvumu mu byobufuzi by'alimu.

"abalwanirizi b'eddembe nga Nelson Mandela be bamu ku bansikiriza okuyingira ebyobufuzi era kibadde kirooto kyange bulijjo okutuukako ku kizinga gye yamala emyaka 27 mu busibe.Nneeyongedde obuvumu." Bobi Wine bwe yagambye.

 kuva ku kkono obi ine edie oore ne ubian i Okuva ku kkono: Bobi Wine, Medie Moore ne Nubian Li.
 

Ku Ssande Bobi Wine yakomekkerezza obugenyi bw'abaddeko mu South Africa gye yagenda mu kivvulu kya  ‘Kyalenga Extra' .

Ekivvulu ekyasembyeyo kyabadde ku Goodwood Civic Hall mu kibuga Cape Town ku Ssande.

Bobi Wine okugenda ku Robben Island yakulembeddwa Medie Moore (amannya amatuufu Rogers Lyadda) omu ku Bannayuganda abakolera e South Africa era omu ku batadde ssente mu bugenyi buno.

 edie ore wakati ne tikiti ze yaguze ali ne addyman pulomota eyategese ekivvulu Medie More (wakati) ne tikiti ze yaguze ali ne Haddyman pulomota eyategese ekivvulu.

Bobi yayimbye mu bibuga okuli; Durban, Johannesburg, East London ne Cape town ng'eno Medie Moore omu ku bavubuka abamanyiddwa okulya obulamu buli lwe bayingirawo mu Kampala yagulidde n'abantu tikiti z'ekivvulu era babaddeyo mu bungi okulaga Bobi Omukwano.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr.Tamale

Fr. Tamale waakuziikibwa Bu...

Fr.  Joseph Tamale 39 afudde oluvannyuma lw'okutawaanyizibwa ekirwadde kya Puleesa n'ensigo. W'afiiridde, abadde...

Omutaka Gabunga, Mubiru  (wakati) ne Benon  Kibuuka (ku ddyo) ng'abasabira omwoyo gwa Ssaabasumba e Lubaga.

Bannaddiini musse ekitiibwa...

OMUTAKA Gabunga,Mubiru Zziikwa owookubiri, asoomoozezza Bannaddiini ku kussa ekitiibwa mu buwangwa n'Ennono. ...

Betty Maina (ku kkono) , minisita Oryem ne Amelia Kyambadde oluvannyuma lw'okussa omukono ku ndagaano.

Gavt. ya Uganda ne Kenya zi...

GAVUMENTI ya Uganda ne Kenya zitadde omukono ku ndagaano egendereddwaamu okumalawo emiziziko egibaddewo wakati...

Lukyamuzi ne Kasibante.

Lukyamuzi ne Kasibante bavu...

ABALWANIRIZI b'eddembe ly'obuntu bawakanyizza emisolo emipya gavumenti gy'ereeta mu mbalirira y'ebyensimbi ey'omwaka...

Abasiraamu nga basimba ekipande ku poloti eyassibwa ku ttaka ly'Omuzikiti  e Kiyunga mu Mukono era ekifo baakyeddiza.

Abasiraamu beddizza ettaka ...

ABASIRAAMU b'omu disitulikiti y'e Mukono abali wansi wa Mukono Muslim District Council batandise okweddiza ettaka...