TOP

Gav't etongozza enkola empya ku basomesa

Added 2nd April 2019

GAVUMENTI etongozza enkola empya egenda okugoberererwa abasomesa nga bakola emirimu gyabwe kiyambe okwongera okutumbula ebyenjigiriza.

 Ofwono Opondo ng’ayogera eri bannamawulire

Ofwono Opondo ng’ayogera eri bannamawulire

Enkola eno yayisiddwa olukiiko lwa baminisita olwatudde ku Mmande era  ng'erina okugobererwa abasomesa mu masomero ga gavumenti n'ag'obwanannnyini.

Omwogezi wa gavumenti Ofwono Opondo bino yabitegeezezza bannnamawulire mu Kampala.

N'agamba nti enkola eno emanyiddwa nga ‘National teachers Policy' egenda kuyamba okulung'amya abasomesa  ku neeyisa,,ensasula,okubakuumira ku mirimu  n'okukola ku mbeera endala ezikwata ku mulimu guno.

Enkola y'emu egenda kuyamba okukola ku by'entendeka y'abasomesa kibongere obukugu n'okulung'amya enkola y'omulimu gino eri abasomesa abali mu bifo by'obukulembeze mu by'enjigiriza okugeza abakulu b'amasomero. 

Ofwono Opondo yagambye nti ekiwandiiko ekinnyonnyola enkola eno kisuubirwa okutuuka mu mikono gy'abasomesa n'abavunaanyizibwa ku by'omulimu guno ku mitendera egitali gimu.

Yategeezezza nti wabaddewo okwemulugunya ku mutindo gw'ebyenjigiriza mu gwanga ng'enkola esuubirwa okwongera okugutumbula.

Yawadde eky'okulabirako nti waliwo abakulu b'amasomero ga gavumenti ate abalina n'agaabwe ag'obwanannyini n'agamba nti enkola empya eyinza okuyamba mu kulung'amya ku nsonga nga zino kuba bye bimu ku bitta ebyenjigiriza.

N'agamba nti abasomesa mu masomero ga gavumenti ate abamu beemulula ku mulimu ne begenda basomesa mu g'obwanannyini oba okukola emirimu emirala mu kifo ky'ogubasasuza n'agamba nti ensonga zino nazo ziyinza okutunuulwamu enkola bw'eneeba etandise okukola.

Yagambye nti ebimu ku biruma abasomesa mulimu ebyensasula okugeza ng'abamu abali mu masomero g'obwanannyini tebalina kontulakiti ku mirimu ng'ate abalala ssente z'emisaala bafuna ntono nga n'olumu tebasasulwa mu luwumula.

Yagambye nti enkola esuubirwa okubaamu okulung'amya ku nsonga nga zino.

Yayongedde okuwa eky'okulabirako nti waliwo amatendekero n'amasomero olumu agasosola abasomesa okugeza waliwo agatakozesa batali bafumbo n'agamba nti enkola eno eyinza okuyamba mu kulung'amya ku nsonga nga zino.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mukyala Nsegumire nga yeetondera Mboize.

Aba NRM mu Kampala beeyuliz...

Olukiiko olwayitiddwa okutabaganya abeesimbyewo ku kkaadi y’ekibiina kya NRM mu Kampala Central n’abo baamegga...

Mwine Mukono

Mwine alina emisango mu kkooti

OMUBAKA wa munisipaali ya Mityana, Francis Zaake yaloopa DPC Mwine Mukono ne banne okuli RPC Kagarura n’abalala...

Mwine ng'ayogera eri abatuuze b'e Mityana abaali beekalakaasa.

Ebikolobero ebizze birondoo...

ABADDE aduumira Poliisi y’e Mityana, Alex Mwine Mukono eyaduumidde abaakubye ttiyaggaasi mu bannaddiini n’abeekika...

Ssentamu ng'asiiga langi ku ddame.

Bayize okukola ebitimbibwak...

HADIJAH Ssentamu akozesezza ekiseera ky’obulwadde bwa ssennyiga omukambwe okugatta obwongo n’abaako ky’ayiiya....

Ono oluggya yaluteekamu ebitebe abantu we bawummulira.

Engeri gy'osobola okukola s...

Oluggya bwe lusukka mu lumu ziba ziyitibwa empya era ebimu ku byafaayo byalwo mu Uganda lubadde lwakwewunda nga...