TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri ababaka gye balumbyemu Nakiwala Kiyingi ku nsonga ya Fresh Kid

Engeri ababaka gye balumbyemu Nakiwala Kiyingi ku nsonga ya Fresh Kid

Added 2nd April 2019

Engeri ababaka gye balumbyemu Nakiwala Kiyingi ku nsonga ya Fresh Kid

ABABAKA ba Palamenti basimbidde minisita Nakiwala Kiyingi (mu katono) ekkuuli ku ky'okugaana omuyimbi omuto Fresh Kid (ku kkono) okuyimba yeemalire ku byokusoma.

Mu lukiiko lwa bannamawulire lwe baatuuzizza ku Palamenti eggulo, ababaka b'abavubuka nga bayita mu kibiina kyabwe ekya Uganda Parliamentary forum for Youth Affairs ekikola ku nsonga z'abavubuka, baalumbye Nakiwala Kiyingi olw'okugaana Fresh Kid okuyimba yeemalire ku kusoma.

Bagamba nti Fresh Kid ky'aliko y'emu ku ngeri ejja okuyamba abavubuka okufuna emirimu nga bakozesa ebitone byabwe. Omubaka Ann Adeke ow'abavubuka b'omu bukiika kkono yategeezezza nti mu Russia, abaana abazannya omuzannyo gwa tennis baabazuulamu ebitone nga bakyali ba myaka ena ne bikulaakulanyizibwa.

Omubaka Mwine Mpaka ow'ebugwanjuba yasabye Nakiwala ayongere okuyamba okunoonyeza abavubuka emirimu kubanga bangi abaasoma n'abataasoma tebagirina. Baanokoddeyo akawaayiro nnamba 19 ku tteeka ly'omwenge erya Liquor Act akagaana abaana abatannaweza myaka 18 okubeera mu bbaala n'ebifo byonna ebinywerwamu omwenge.

Omubaka w'essaza ly'e Kasambya, Gaffa Mbwatekamwo yagambidde nga bw'agenda okumuteekamu ssente yeegatte ku kibiina ekikola ku by'abayimbi ekya Swangz Avenue. Kyokka ababaka baalabudde bamaneja b'omwana ono obutamulyako ssente ze, obutamutwala mu bifo by'amabaala okuyimbiramu, obutamuyimbisa kiro ng'ate alina kuba awummudde n'ebirala ebikontana n'amateeka g'abaana. Baalabudde nti engeri gye kitakkirizibwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...