TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mwawule ebyobufuzi ku nkulaakulana ya Masaka - Omubaka Kabanda

Mwawule ebyobufuzi ku nkulaakulana ya Masaka - Omubaka Kabanda

Added 2nd April 2019

OMUBAKA omukyala owa Masaka mu Palamenti, Mary Babirye Kabanda awabudde Bannamasaka nti bettanire enkulaakulana ebagattira awamu olw'okutwala disitulikiti mu maaso.

 Omubaka wa Masaka mu Paalamenti Mary Babirye Kabanda n'abalala nga batunuulidde omugenyi omukulu Eng Richard Ssebawamala ng'atema evvunike ku ttaka omubaka ly'aguze okuzimbirako abaana abatalina mwasirizi essomero mwe bannaasomero ku bwerere,Bafaaze ye Fr Emmanuel Bukulu Owakabi ne Fr Timothy Ssimwogerere,omubaka Florence Nnamayanja n'abalala   Ekif.Ssennabulya Baagalayina

Omubaka wa Masaka mu Paalamenti Mary Babirye Kabanda n'abalala nga batunuulidde omugenyi omukulu Eng Richard Ssebawamala ng'atema evvunike ku ttaka omubaka ly'aguze okuzimbirako abaana abatalina mwasirizi essomero mwe bannaasomero ku bwerere,Bafaaze ye Fr Emmanuel Bukulu Owakabi ne Fr Timothy Ssimwogerere,omubaka Florence Nnamayanja n'abalala Ekif.Ssennabulya Baagalayina

"Masaka okugizza ku ntikko n'okuginywerezaako twetaaga okugatta emikono n'endowooza ne tweggyamu enjawulana z'ebyobuguzi",Omubaka Kabanda bwe yakaatirizza.     

Amagezi gano yagawadde ayanjulira Bannamasaka ettaka lye yaguze e Mukungwe mu ssente zaafisizza mu Paalamenti kuzimbweko essomero ly'abaana abatalina mwasirizi.       

Ying. Richard Ssebawamala yeyatemye evvunike ate Fr.Tomothy Ssimogerere n'awa omukisa okuzimba essomero kutandike nga libalirirwa okuwementa akawumbi kalamba aka ssente.     

Omubaka Kabanda yagambye nti ekirowoozo yakifunira mu kisera ky'okuyigga obululu gye yazuulira abaana abangi nga tebafuna mukisa gusoma olw'ebizibu ebitali bimu ng'olwalondebwa n'asalawo abasaggulire obuyambi.     

"Omusaala gwange how'emyaka esatu n'asalawo kugugulamu ettaka lino era mikwano gyange abazungu bakkirizza okunkwatizaako mu kuzimbako essomero ery'omulembe", bwe yakaatirizza.     

Wabula yabasabye nabo bamukwatizeeko  olw'okutuukiriza akalombombo k'abazungu nti baagala okulaba Bannansi kye  bataddemu mu kuyimirizaawo omulimo gwabwe.     

 Fr Ssimwogerere yakubirizza abasomesa,abazadde n'abayizi nti bateekwa okubeera n'ebiruubirirwa kw'ebyo bya baagala ate ne babinywererako my'endowooza bagyesigamizza ku Katonda.     

Yennyamidde olw'abayivu ate okwenyigira mu bikolwa by'obubbi n'okulya enguzi so ng'edda byasuubirwanga mu bataasoma.      Omubaka Kabanda ne bba Charles Kabanda bakaatirizza ekibazimbisizza essomero lino nti baagala nnyo okukolera Bannamasaka n'eggwanga lyonna okutwalira awamu. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...