TOP

Ab'e Lugazi bawanjaze ku bbula ly'amazzi

Added 2nd April 2019

ABATUUZE mu kibuga Lugazi bawanjagidde abakulira ekitongole ky’amazzi mu ggwanga babongere ku bungi bw’amazzi agaweerezebwa mu kibuga ekyo.

 Mugisha (ayimiridde) ng’ayogera mu lukiiko.

Mugisha (ayimiridde) ng’ayogera mu lukiiko.

Bano nga beegattiddwaako abakulembeze baabwe bategeezezza abakulira ekitongole ky'amazzi ekya NWSC nti olw'okuba amazzi ge bafuna matono, baalibadde badda ku nzizi zaabwe ezaaliwo enkadde nti kyokka amateeka gabakugira.

Baayongedde ne bategeeza nti amazzi waliwo lwe gamala ennaku nga tegaliiko olwo ne basalawo okugula ag'ebidomola nga nago abagatunda bwe bamanya nti gabuze nga baduumuula bbeeyi yaago.

Olumu ekidomola bakituusa ku 1,000/ ekitali kya bwenkanya Bino abatuuze baabyogeredde mu Liz Motel e Lugazi mu musomo gw'okukubaganya ebirowoozo ogwatekekeddwa aba NWSC okutunuulira ebituukiddwaako mu bbanga lya mwaka gumu okuva lwe baakoma okusisinkana.

Kino kibeerawo buli mwaka n'ekigendererwa ky'okulaba enkyukakyuka eziriwo Amyuka meeya wa Lugazi, Stephen Kateregga yategeezezza nti ne gavumenti ensimbi ze yali ebawa ez'amazzi tekyazibawa kuba ekimanyi amazzi e Lugazi gye gali so nga agaliwo matono nga ne bwe kyalibadde kyetaagisa okusima enzizi nti ky'azuulwa nti enzizi ezisinga mu Lugazi amazzi mabi Ying.

Silver Mugisha akulira NWSC yagumizza ab'e Lugazi ku bbula ly'amazzi n'abagamba nti mu bbanga lya myezi ena baakutandika okusima emidumu gy'amazzi okuva e Mukono bagatuuse e Lugazi nga wano baakubawa payipu ya yinsi 12 okudda mu kifo ky'eyo eya yinsi mukaaga eriwo kati.

Yagasseeko nti omulimu guno gwakuggwa mu bbanga lya mwaka gumu gwokka. David Mutebi omubaka w'ekitundu Buikwe South yasiimye ekitongole olwokusalawo okwongera amazzi mu Lugazi kyokka n'akisaba kyongere okugasaasaanya ne mu bitundu bya Buikwe ebirala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.