TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abazigu bawambye Omumerika eyazze okulambula ne bamusaba buwumbi

Abazigu bawambye Omumerika eyazze okulambula ne bamusaba buwumbi

Added 4th April 2019

ABAZIGU ab’emmundu bateeze abalambuzi ababadde mu kkuumiro ly’ebisolo erya Queen Elizabeth ne bawambako babiri ne basaba ssente doola za Amerika emitwalo 50 ezibalirirwamu eza wano bbiriyooni emu n’obukadde 800 (1,861,575,065/-).

Bino byabaddewo ku Lwokubiri akawungeezi abalambuzi bana ne ddereeva eyabadde abavuga bwe baalumbiddwa abazigu.

Baabadde balambula mazike n'ebisolo ebirala mu kkuumiro lino mu katundu akayitibwa Edward Track akali wakati wa Katoke ne Inshasha Wilderness Park ebiri mu disitulikiti ye Kanungu.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu ggwanga Polly Namaye yagambye abalambuzi bano baabadde mu mmotoka nnamba UAR 777E eya kkampuni ya Wild Frontiers Uganda Safaris.

Kwabaddeko Kimberly Sue Endecott munnansi wa Amerika ye yawambiddwa, abafumbo Julius Martins ne Berbel Julius wamu ne ddereeva waabwe Jean Paul era eyabadde gayidi abalambuza.

"Twagala okutegeeza eggwanga nti waliwo abazigu abaawambye abalambuzi mu kkuumiro ly'ebisolo erya Queen Elizabeth era bwe baababuzizzaawo ne batandika okweyambisa essimu y'Omumerika gwe baawambye okukuba nga basaba ssente.

Wabula naffe nga abeebyokwerinda tetutudde tuli mu kubanoonya," Namaye bwe yategeezezza. Yategeezezza nti okuzuula nti abalambuzi bawambiddwa, kyaddiridde okulwawo nga tebabalaba abakulira wooteeri we baavudde ne basalawo okugenda okubanoonya kwe kusanga abafumbo Martins ne Berbel nga basobeddwa.

Bano be baayogedde ekyabadde kibatuuseeko era ne wayita akaseera katono abazigu ne batandika okukuba essimu nga basaba ssente.

Yategeezezza nti poliisi yamaze dda okuyungula abaserikale baayo abaatendekebwa mu bukugu obwenjawulo okuva mu kitongole ekivunaanyizibwa ku bulambuzi nga bakwataganye n'ebitongole ebirala okuli ISO, CMI ne Flying Squad.

Yagambye nti poliisi era yayiye abaserikale ku nsalo okwekebejja abayingira n'abafuluma eggwanga ng'omu ku kaweefube w'okukwata abateeberezebwa okuwamba abalambuzi saako n'okulondoola essimu abazigu gye baakozesezza okukuba nga basaba ssente.

Yagasseeko nti era ekitebe kya Amerika kyategeezeddwa dda nga bwe waliwo munnansi waabwe eyawambiddwa ng'okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Janet Museveni asimbudde tt...

MINISITA w’ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni asibiridde entanda ttiimu y’eggwanga ey’abaddusi bw'abade agisimbula...

Abakulembeze baloopedde Kis...

ABATUUZE mu Kisenyi n’abasuubuzi abatundira ebyamaguzi ku nguudo balaajanidde dayirekita wa Kampala omuggya Dorothy...

Amasannyalaze gakubye babir...

Entiisa yabuutikidde abatuuze ku kyalo Wantoni mu Mukono Central division, Mukono munisipaali, abasajja babiri...

Loodi Meeya Erias Lukwago ngakyazizza dayirekita wa Kampala omuggya, Dorothy Kisaka

Loodi meeya akyazzizza dayi...

  Ababiri basoose mu kafubo mu ofiisi za Loodi Meeya okumala essaawa bbiri nga bateesa. Lukwago yamwanjulidde...

Gav't etandise okugabira Ba...

GAVUMENTI etandise okugabira Bannakampala masiki eziyamba okutangira ssenyiga omukambwe kyokka abamu ku ba LC abaazikwasiddwa...