TOP

Minisita Nantaba Gav't emutaddeko akakiiko

Added 4th April 2019

GAVUMENTI etaddewo akakiiko k’abaminisita ak'enjawulo kanoonyereze okuzuula oba nga waaliwo omupango gw’okwagala okutta minisita Idah Nantaba nga bwe kiba kituufu balina okuzuula abaaguli emabega n’ekigendererwa kyabwe.

 Minisita Nantaba

Minisita Nantaba

Minisita omubeezi ow'ensonga z'omunda mu ggwanga, Obiga Kania yasinzidde mu Palamenti eggulo n'ategeeza nti olukiiko lwa Kabineeti olwatudde ku Mmande lwasazeewo okuteekawo akakiiko kanoonyereze ku byonna ebyaliwo ku Ssande nga March 24, 2017 e Naggojje mu Mukono.

Ku lunaku olwo Ronald Ssebulime lwe yattibwa abasirikale ba poliisi ku bigambibwa nti yali alondoola Nantaba n'ekigendererwa ky'okumutuusaako obulabe.

Obiga yagambye nti akakiiko akaateereddwawo kakulirwa minisita w'ensonga z'omunda mu ggwanga nga kaliko ne baminisita abalala.

Ensonga mu Kabineeti zaategeezezza nti abalala kuliko; omumyuka wa Ssaabawolereza wa Gavumenti Mwesigwa Rukutana, minisita omubeezi ow'ebyentambula Aggrey Bagiire ne minisita omubeezi ow'ensonga z'ebweru Okello Oryem.

Mu kiseera kino Obiga yalaze nti okuttibwa kwa Ssebulime bakutwala ng'ettemu, kuba yattibwa oluvannyuma lw'okukwatibwa.

Mu kaweefube w'okuzuula abatemu Gavumenti yamaze okukwata abantu basatu okuli; Cpl. David Ssali, PC. Ronald Opira ne PC. Ronald Bagonza olw'okwenyigira mu kutemula Ssebulime.

Minisita yagambye nti poliisi nayo ekyagenda mu maaso n'okunoonyereza nga waliwo ebibinja bya mirundi ebiri ebyateekeddwaawo okuli; ekibinja ekyavudde ku kitebe ky'abambega e Kibuli n'ekirala ekyavudde mu Kampala Metropolitan Police.

Gavumenti yeetondedde famire n'abooluganda lwa Ssebulime eyattibwa abasirikale ba poliisi mu ngeri embi ennyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.