
Abdelaziz Bouteflika
Bouteflika yalangiridde ku Lwokubiri ekiro nga bw'alekulidde mbagirawo n'annyonnyola nti, ekyo akikoze okuwa bannansi ba Algeria omukisa okutwala ensi mu maaso mu ngeri bbo gye baagala.
Ebbaluwa ey'okulekulira kwa Pulezidenti Bouteflika yafulumiziddwa ku mukutu gw'amawulire ogwa Gavumenti oguyitibwa APS News Agency, nga waabadde waakayita essaawa nga mukaaga zokka ng'omuduumizi w'amagye Lt. Gen. Ahmed Gaed Salah azzeemu okuwa Pulezidenti nsalessale okwamuka entebe nga tebakozesezza lyaanyi "Nsazeewo ku lw'obulungi bwa Algeria, okuwa omukisa bannansi okutwala ensi yaffe mu maaso nga bwe bandyagadde.
Kino nkisazeewo okutangira embeera eyinza okutuzza embaga ng'eggwanga", Bouteflika bwe yategeezezza mu bbaluwa gye yawandiikidde Pulezidenti w'akakiiko aka Konsitityusoni.
Obuyinza obw'okuddukanya eggwanga kati bukwasiddwa ssentebe wa Palamenti, Abdelkader Bensalah, asuubirwa okubeera Pulezidenti wa Algeria olw'ekiseera okumala emyezi esatu ng'okulonda bwe kutegekebwa Okutuuka okulekulira, Bouteflika abadde yaakafugira Algeria emyaka 20 yabadde akoze buli kyonna ekisoboka okusigala mu ntebe kyokka abantu ne bamussaako akazito ne bagimusuuza.
Abantu baasooka kusuuza Bouteflika enteekateeka ze ez'okuddamu okwesimbawo ku kisanja ekyokutaano wadde embeera ye ey'obulamu eri yegeyege okuva mu 2013 lwe yalumbibwa obulwadde obwamusannyalazaako oludda n'atandika okwogera ng'ajegemera ng'okukankana.
Bouteflika mu kiseera kino atambulira mu kagaali k'abalwadde tasobola kuyimirira nga takwatiriddwa.
Omwaka oguwedde 2018, yakakasa eggwanga nti, mu mwaka guno agenda kuddamu okwesimbawo. Kasita yakakasa nti waakwesimbawo ku kisanja ekyokutaano, abantu ne batandika okwekalakaasa.
Bouteflika nga March 1, 2019 yagamba nti, eby'okuddamu okuvuganya abivuddeko, agenda kufuga okutuusa nga April 28, 2019, ekisanja kye ekyokuna lwe kiggwaako. Kyokka abantu nakyo baagigaana ne bagenda mu maaso n'okwekalakaasa okutuusizza ddala ku Lwokubiri, Bouteflika lwe yapondoose n'awandiika ebbaluwa erekulira.
Mu kwekalakaasa bannansi babadde basinga kumuvunaana bulyake obujjudde mu Gavumenti ye n'okuddukanya eggwanga mu ngeri etamatiza ng'abantu balumiriza nti Bouteflika takyali mu mitambo obulwadde bwamugongobaza.
Amagye gaasazeewo okunaabira Pulezidenti mu maaso oluvannyuma lw'okukizuula ly'ekkubo lyokka eriyinza okutuusa eggwanga eryo ku mirembe nga bakyusa obukulembeze.
Munnamagye oyo, Gen. Ahmed Gaid Salah yannyonnyola gye buvuddeko nti, Konsitityusoni eryo tekkiriza mukulembeze atakyamanyi bigenda mu maaso ku nsi olw'endwadde oba emyaka (ng'awusse) okusigala mu ntebe.
Gen. Ahmed yategeeza nti wadde okwekalakaasa kwa mirembe, kugenda kuleetera abataagala ggwanga lya Algeria okulisensera nga bakozesa bannabyabufuzi abawakanya Pulezidenti aliko nga ky'ekiseera yeggyeeko yekka.