TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Museveni alabudde abajaasi okwewala ettamiiro n'obwenzi

Museveni alabudde abajaasi okwewala ettamiiro n'obwenzi

Added 4th April 2019

PULEZIDENTI Museveni alabudde abajaasi be okwewala obwenzi, ettamiiro n’okunywa ennyo sigala ng’agamba nti bigenda kussa obulamu bwabwe mu katyabaga.

Museveni era agumizza abajaasi nti agenda kutereeza ebyenjigiriza n'ebyobulamu mu nkambi z'amagye abaana baabwe basobole okusoma obulungi n'okuba mu bulamu obweyagaza.

Yayongedde okusaba bakazi b'abajjaasi okuba abayiiya beetandikirewo emirimu egivaamu ensimbi mu kifo ky'okulowooza ku kubeerawo ku misaala gy'ababba baabwe.

Bino Museveni yabyogeredde ku kitebe ky'ekibinja kya'amagye ekya 4th Infantry Brigade e Gulu gye yasinzidde okukalatira abajaasi okumanya ekinyusi ky'okutandika kw'eggye lino kye yagambye nti kyekulungulula ku kulwanyisa busosoze mu mawanga  n'okulwanirira obumu bw'omwana w'Omufirika.

Okusinziira ku kiwandiiko ekifulumiziddwa amaka g'obwa Pulezidenti, Museveni yagambye nti ebikolebwa mu Uganda tebisobola kugulwa Bannayuganda bokka wabula birina n'okutundibwa ebweru.

Yagambye nti Uganda efulumya amata agaweza liita obuwumbi bubiri n'obukadde musanvu omwaka  kyokka ng'enywaako obukadde 800 zokka ng'endala akawumbi kamu n'obukadde 900 zirina kutundibwa bweru.

Yayongedde nti kasooli Uganda eria ttani obukadde butaano kyokka ng'eryako emu yokka.Kino kitegeeza ttani obukadde buna zirina kutundiba bweru.

‘'Tufulumya emipiira gya pikikpiki 10,000  buli lunaku,tukozesaako 3,000 ne wafikawo 7,000. Kiba kitwetaagisa okufuna akatale k'ebweru'' Museveni bwe yagambye. Yawadde abakazi  b'abajaasi obukadde 100 babusse mu SACCO yabwe 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Chiko bamuwonyezza okugwa m...

Kazannyirizi Frank Mubiru amanyiddwa nga Chiko awonye okugwa mu masiga n'okulya ebikomando. ‘‘Bannange ekintu...

Poliisi ng’eteeka ekiwuduwudu ky’omulambo gwa Kadiidi (mu katono) ku kabangali yaayo.

Akkakkanye ku jjajjaawe n'a...

Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Rwengwe II ekisangibwa mu ggombolola y’e Kinkyenkye, mu disitulikiti y’e...

Poliisi ekyanoonyereza ku b...

OMWOGEZI w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, Charles Twine yagambye nti okunoonyereza...

Kenzo ne banne. Mu katono ye Bobi Wine

Kiki ekiri emabega wa Kenzo...

Lubega agamba nti ekintu kya Kenzo kyapangibwa aba People Power okumusosonkereza nga bamujooga aggweemu essuubi...

Kenzo bye yayogedde ku Bobi...

Waliwo ne Bannayuganda abali emitala w’amayanja naddala Dubai abaamusabye aleme kuddamu kulinnya mu nsi zaabwe...