TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Gav't egenda kwewola obuwumbi 700 okuzimba amasomero ga siniya n'amalwaliro

Gav't egenda kwewola obuwumbi 700 okuzimba amasomero ga siniya n'amalwaliro

Added 4th April 2019

GAVUMENTI egenda kwewola ensimbi ezisoba mu buwumbi 700 okuzimba amasomero ga siniya 242 mu magombolola gye gatali n’amalwaliro amatonotono 124 mu miruka n’amagombolola agatalina.

Entegeka zino zaayanjuddwa minisita w'eggwanga ow'ebyensimbi David Bahati mu palamenti era ensimbi zigenda kwewolwa mu kitongole kya IDA ekya bbanka y'ensi yonna. Era nga zakukola ku byabulamu na njigiriza.

Uganda egenda kumala emyaka 38 ng'esasula ssente zino. Kyokka ng'emyaka egisooka omukaaga egenda kuba tegyibwako nsimbi.

Ssentebe w'akakiiko ka palamenti ak'ebyenfuna Syda Bumba yagambye nti okussa ensimbi mu by'obulamu n'ebyenjigiriza kigenda kuyamba okusima omusingi gw'embeera z'ebyobulamu ennungi.

Ebyenjigiriza bigenda kussibwako obukadde bwa ddoola 130 (eza Uganda obuwumbi nga 500) ate ebyobulamu bissibweko   obuwumbi 200 zissibwe ku by'obulamu.

Ensimbi za kuzimba essomero lya siniya wakiri limu mu ggombolola eritalina ssomero lya gavumenti ate ez'ebyobulamu zissibwe mu kuzimba amalwaliro mu miruka oba eggombolola okuzimba Health Centre II ne III mu bitundu mwe zitali.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuwagizi wa NUP ng'abuuka ku mmotoka ya Bobi Wine okuwona abapoliisi okumukwata.

Omuwagizi wa NUP abuuse aba...

Bobi Wine bwe yabadde e Luuka gye buvuddeko gye baamukwatidde ne bamusibira e Nalufenya bingi ebyabaddewo. Muno...

Okilu nga bamusiba bamwokye.

Ono omubbi alula ! Babadde ...

OMUVUBUKA aludde ng'abatuuze bamulumirizza okubamenyera amayumba n'abanyagulula bamukutte lubona ng'abba ne bamusiba...

Omusawo w'ekinnansi ne bba.

Omusawo wekinnansi ne bba b...

OMUSAWO w'ekinnansi, Rosemary Nabakooza azinye amazina agagete n'abasajja n'awuniikiriza abatuuze abeetabye mu...

Sseviiri ng'aalaga ebisago ebyamutuusiddwaako abaamukubye.

Bawambye abeesimbyewo e Lub...

Abantu abatannategeerekeka baawambye abamu ku beesimbyewo mu bitundu bya munisipaali y'e Lubaga eby'enjawulo, ne...

Byabakama.

Poliisi mukomye okugumbulul...

SSENTEBE w'akakiiko k'ebyokulonda, Simon Byabakama awandiikidde omuduumizi wa poliisi mu ggwanga n'amulagira bakomye...