TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Team ya Besigye erumbye omukago gwa DP ne Bobi Wine

Team ya Besigye erumbye omukago gwa DP ne Bobi Wine

Added 6th April 2019

Team ya Besigye erumbye omukago gwa DP ne Bobi Wine

 Ab'omukago gwa DP nga bamaze okussa omukono ku ndagaano y'okwegatta ate ku ddyo ye Besigye awakanye eky'omukago gwa DP

Ab'omukago gwa DP nga bamaze okussa omukono ku ndagaano y'okwegatta ate ku ddyo ye Besigye awakanye eky'omukago gwa DP

TTIIMU ya Dr. Besigye erumbye omukago gwa DP ne Bobi Wine ogwatongozeddwa nti gugenderera kuwa bagwetabyemu bifo mu byabufuzi. Kyokka omukago gubuusizza amaaso ensonga enkulu ey'okuggya Museveni mu buyinza.

Kyokka abawagizi b'omukago bagamba nti, ebyogerwa aba Besigye biraga bwe batidde amaanyi ga Bobi Wine ne banne. Ekibiina kya DP ekikulemberwa Nobert Mao kyatadde omukono ku ndagaano y'okukolaganira ne Social Democratic Party ekya Michael Mabikke, Peoples Development Party ekya Dr. Abed Bwanika ne Lubega Mukaaku owa TJ Platform. Omukolo gwabadde ku Hotel Africana ku Lwokuna.

Ibrahim Ssumujju Nganda (Kira Munisipaali) omwogezi wa FDC yasabye Bannayuganda okwetegereza omukago ogwatongozeddwa gwe yagambye nti, gwawuka ku mirala egyali gikoleddwa kuba guno abagulimu banoonya bifo.

Yagambye nti bangi ku bali mu mukago gwa DP embeera y'ebyobufuzi eriwo mu ggwanga tekyabasobozesa kufuna mwagaanya ku lwabwe, kye bavudde basalawo okweyubululira mu mukago. "Bannaffe Besigye gwe balumba yava e Nairobi mu ddwaaliro lya Aga Khan nga musawo, n'alekawo omulimu gwe ne yeesogga ensiko.

 mwogezi wa  eneth aul akande naye atangaazizza ku mukago gwa Omwogezi wa DP Keneth Paul Kakande naye atangaazizza ku mukago gwa DP

Tekibeera kya buntu okumugeraageranya ku bano abasimi b'amayenje", Ssemujju bwe yagambye. N'agamba nti aba FDC tebalina nteeseganya zonna na mukago gwa DP n'ebibiina ebirala kuba ebigendererwa balina byanjawulo.

Ssemujju agamba nti bo balowooza nti Museveni tateekeddwa kwetaba mu kalulu ka 2021 ate bannaabwe aba DP balowooza nti, basobola okumuwangula mu kalulu ekintu kye yayise eky'okwerimba.

"Abamu balemeddwa okumanya nti lino eggwanga, Museveni alifuga nga bw'ayagala nga ne bw'omuwangula yeerangirira", bwe yagambye. Wabula n'agattako nti okwegatta tekyandibadde kibi, kyokka eky'okwegatta n'abantu nga Dr. Abed Bwanika, Lubega Mukaaku ne Michael Mabikke abatalina gwe bazze naye tekibeera na makulu.

Batubuulire Mabikke alina abantu bameka? Ate Bwanika? Roland Mugume (Rukungiri Munisipaali) omukago gwa DP yagugeraageranyizza ku byaliwo ku mukago gwa The Democratic Alliance (TDA) ogwalonda Amama Mbabazi abaatuulanga mu wooteeri e Kampala ne basalawo nga tebamanyi ndowooza z'abantu. "Ne ku luno baatudde ku Africana mu lukiiko nga ffe tuli Kigezi tusaggula buwagizi.

Kikyamu omuntu okudda mu wooteeri ku sumbuusa nga togenze mu bantu n'olowooza nti osobola okubasalirawo", Mugume bwe yagambye. Yagasseeko nti olutalo lwe balimu lwa Bannayuganda era tebalina lutalo na muntu yenna kulwana mu ngeri etegasa ggwanga.

 etty ambooze ngannyonnyola ku mukago gwa Betty Nambooze ng'annyonnyola ku mukago gwa DP

BETI NAMBOOZE AYANUKUDDE BESIGYE Betty Nambooze (Mukono Munisipaali) yafulumizza ekiwandiiko ku by'omukago gwa DP-BLOC n'avumirira abalumba Besigye ng'omuntu, ekibiina kya FDC ne Peoples Government gye yalondebwa ng'omwogezi. Agamba nti baaniriza omuntu yenna abeegattako mu lutalo lw'okununula eggwanga ne bwe babeera nga si be bakulembedde olutabaalo.

Kyokka n'agamba nti Besigye aludde mu lutalo luno era alutegeera y'ensonga lwaki bali mabega we. Enkola y'okukolera awamu n'okugumiikiriziganya nga tebakulembezza kwegwanyiza kw'abantu ssekinnoomu bye bijja okubayamba okuvvuunuka embeera gye balimu. N'alabula abali ku ludda oluvuganya baleme kweruma bokka na bokka kubanga ekyo kibanafuya.

Ekyetaagisa kwegatta. Yayanirizza omukago gwa DP ogwatongozeddwa n'akubiriza abantu bonna naddala abawagizi baabwe amaanyi okugateeka ku kulwanyisa obwannakyemalira. Wadde ng'obukodyo bwe balwanyisa busobola okwawukana naye ekikulu balina okusigala nga batunudde mu kkubo limu lya kutuuka ku buwanguzi.

ABALI MU MUKAGO BAANUKUDDE Omwogezi wa DP, Keneth Paul Kakande yategeezezza nti bakkiririza mu kwegatta era mu biseera ebiyise n'aba FDC kye baali bakkiririzaamu naye olw'okuba balabye nga DP ku luno y'ekikulembedde kati bagezaako okulaga nti tebakyagala.

Ekyakoleddwa yakuyise kusaba kw'abantu wadde ng'abakulembeze bayinza okuba nga baagala kirala era mu kiseera kino baasazeewo kukulembeza ddoboozi ly'abantu. N'agamba, "Ffe abakulembeze tuyinza okuba nga tulina kye twegwanyiza kyokka byonna tuteekwa okubissa ku bbali ne tugondera abantu kuba be batulinako obuyinza.

Yasuubizza bwe bagenda okusigala nga boogeraganya n'aba FDC basobole okubeegattako mu lutalo lwe balimu wadde nga mu kiseera kino bakyabeeyawuddeko. Omuntu yenna abavumirira mu kiseera kino bamutwala nti mulabe wa bantu.

 semuju ganda omwogezi a  naye ayogedde ku mukago gwa Ssemuju Nganda omwogezi a FDC naye ayogedde ku mukago gwa DP

Kakande yagambye nti tebayinza kwegatta ku kaweefube wa kugaana kukunga bantu kwewandiisa kuba bakkiriza nti bwe baba beegasse ne basimbawo omuntu omu basobola okuwangula Museveni. Samuel Lubega Mukaaku: Yagambye nti aba FDC mu kiseera kino babatwala nga baggya baabwe abatasobola kuboogerera kalungi konna.

Yategeezezza nti ebimu ku bintu bye boogerako nga Museveni obuteesimbawo mu 2021 byabayitako dda okuva lwe yaggya ekkomo ku myaka gy'okwesimbawo okuva ku 75. "FDC baali bazinze mikono nga DP erwanyisa okukyusa Ssemateeka okuggyamu akawaayiro ku myaka.

Ekyo kyalema tetuyinza kudda mu bya kulwana ntalo zitalina kigendererwa nga tumanyi nti tumala budde", Mukaaku bwe yagambye. Okwegatta yakwogeddeko nti ly'ekkubo lyokka lye balina okuyitamu nga bakunga abantu okwewandiisa okusinga okulowooleza mu FDC eyanafuwa kyokka nga balowooza nti bokka be balina okusimbawo omuntu ku bwapulezidenti.

Omuntu yenna atakkiririza mu kwegatta yagambye nti bajja kumukkiriza atambule yekka nga bwe baabaleka ne bakola Gavumenti ya ‘People's Government

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamu ku ba ssentebe b’ebibiina bya ttakisi okuli Kalifan Musajja Alumbwa (ku kkono) ne Mustafa Mayambala.

KCCA ettukizza eby'okusoloo...

KCCA ettukizza eby’okusasuza abattakisi ssente za lisiiti eya buli mwaka era ebalagidde beetereeze ng’okusasula...

Abasuubuzi nga balumbye Willy Walusimbi (atudde ku ddyo) mu ofiisi.

Ab'akatale k'e Nakasero bat...

ABASUUBUZI b'omu katale k'e Nasekero bavudde mu mbeera oluvannyuma lw'abamu ku baali abakulembeze abaagobwamu KCCA...

Dr. Lwanga ne Fr. Nkeera.

Dr. Lwanga akyusizza Fr. Nk...

SSAABASUMBA w'essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga akoze enkyukakyuka mu Bafaaza n'akyusa abadde...

Ronald Kasirye ng'ali waggulu ku muti gw'amasannyalaze.

Omusajja alinnye omuti gw'a...

ABATUUZE b'e Ntinda mu ministers Village bakedde mu ntiisa oluvannyuma lw'omuvubuka ategerekeseeko nga Ronald Kasirye...

Paasita Mondo ne bakanyama.

Paasita Mondo adduse mu ggw...

PAASITA Mondo adduse mu ggwanga agamba waliwo abagaala okumutta. Mikwano gya Paasita Mondo nga bakulembeddwaamu...