TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyafeze abantu okubafunira emirimu asibiddwa e Luzira

Eyafeze abantu okubafunira emirimu asibiddwa e Luzira

Added 6th April 2019

Mpoza kigambibwa nti okumatiza abantu bano nti ddala ky’ayogerako akitegeeza yasooka kwerimbika mu busawo bwe yasangibwa ng'ayambadde yunifoomu y’abasawo era kino abasinga kye kyabawa essuubi nti omuntu gwe bakolagana nabo si mufere.

 Mpoza eyaggaliddwa mu kkomera e Luzira

Mpoza eyaggaliddwa mu kkomera e Luzira

Bya HENRY KASOMOKO

KKOOTI  esindise omuvubuka Herman Mpoza 27 mu kkomera  e Luzira  lwa kukozesa lukujukujju  n'aggya ku bantu  ssente ng'abasuubizza  okubafunira  emirimu  mu ddwaaliro  ly'abakyala  erya  Specialises Women and  Neonatal Hospital.

Omusango yaguzza mu March omwaka guno bwe yakunganya  abawala  n'abalenzi okuva mu bitundu ebyenjawulo  n'abategeeza nga bwe waliwo agenda okubawa emirimu n'abaggyako  150,000/- n'okusoba.

Mpoza  kigambibwa nti okumatiza abantu bano nti  ddala  ky'ayogerako akitegeeza  yasooka  kwerimbika  mu  busawo bwe yasangibwa  ng'ayambadde   yunifoomu y'abasawo  era  kino abasinga  kye kyabawa  essuubi nti omuntu gwe bakolagana nabo si  mufere.

Racheal Namubiru  omu ku babbibwaako  ssente  yategeezezza nti bwe yakubidde mpoza amubuuze ebintu we bituuse n'amutegeeza nti alina kulinda bamukubire kwe kugenda ku poliisi y'e Mulago  gye yagguliddewo omusango ku fayiro SD: 23/20/03/2019.

Oluvannyuma   poliisi yeeyambisa  Namubiru  nga bayita  mu kakodyo ku kuddamu okukubira  Mpoza  essimu  kwe baafunira oluwenda  ne basobola okumukwata n'aggalirwa  n'oluvannyuma  n'asindikibwa mu  kkooti  eyamusindise ku limanda  e Luzira.

Poliisi nga  tennatuuka  kusiba   Mpoza   yasoose kumutwala  ku ddwaaliro gy'agamba nti  gy'akolera n'ekola okubuuliriza  ku bakulira  eddwaaliro lino  oluvannyuma abaamweganyi  ne bategeeza  nti  be bamu ku bafere ababuzaabuza abalwadde

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Musinga

Poliisi eraze enguudo ezige...

PULOGULAMU ya poliisi gye yafulumizza okulungamya eby’entambula ku luguudo lwa Jinja Road ng’abeegwanyiza obwapulezidenti...

Abakungubazi nga bayingira mu kkanisa e Kawaala.

Bazirise nga batuusa omulam...

EBIWOOBE n’emiranga byabuutikidde ekkanisa ya Revival Church e Kawaala ng’omulambo gw’abadde agisumba, Pasita Augustine...

Kabaaya ne ofiisa wa poliis...

POLIISI ng’eri wamu n’ekitongole ekirwanyisa obuli bw’enguzi mu maka g’obwapulezidenti ekikulirwa Lt. Col. Edith...

Pulezidenti Magufuli

Bawakanyizza obuwanguzi bwa...

Mu kiseera kino ng’ensi eri ku bunkenke olwa Corona era nga n’amawanga mangi gakyali mu muggalo, Magufuli yagaana...

Israel etenderezza Museveni...

EGGWANGA lya Israel litenderezza Pulezidenti Museveni olw’okuba omusaale mu kubatabaganya ne Sudan bwe baludde...