TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Basabidde omwoyo gwa Ssebyala eyatandikawo bbaasi z'Abaganda

Basabidde omwoyo gwa Ssebyala eyatandikawo bbaasi z'Abaganda

Added 8th April 2019

Sebyala yali omu ku baatandikawo bbaasi z’Abaganda mu kifo awali Qualicel era oluvannyuma yatandika Fred Sebyala Transporters etambuza amafuta n’okugagabira kkampuni ya Vivo Energy mu ggwanga.

 Mulindwa ng'assa ekimuli ku malaalo ga kitaabwe ku Lwomukaaga.  Owookubiri ku ddyo ye mulabirizi Matovu.

Mulindwa ng'assa ekimuli ku malaalo ga kitaabwe ku Lwomukaaga. Owookubiri ku ddyo ye mulabirizi Matovu.

Bajjukidde omwoyo gwa Fredrick Sebyala omu baatandika okulinnyisa omutindo gw'Ebyentambula mu ggwanga.

Omukolo guno gwabadde mu kkanisa ya St. Peters Church of Uganda e Kalasa mu Bulemeezi e Luweero ng'emikolo gy'okumusabira gyakulembeddwaamu omulabirizi wa Central Buganda eyawummula, Bp. Jackson Matovu. Omusika  Edward Mulindwa ye yawomye omutwe mu mukolo guno n'aba famire y'omugenzi.

Sebyala yali omu ku baatandikawo bbaasi z'Abaganda mu kifo awali Qualicel era oluvannyuma yatandika Fred Sebyala Transporters etambuza amafuta n'okugagabira kkampuni ya Vivo Energy mu ggwanga.

Abaana be abaabadde bakulembeddwaamu Mulindwa baategeezezza nti kitaabwe yabalekera omukululo ogutali mwangu kusangulawo era bamwebaza nti yaleka abayigirizza okuba abakozi.

Yagambye nti kitaabwe yabalekera ennono y'obukozi, obuwulize eri abakulembeze okwewala amabanja n'okukuuma eby'obugagga bwe era babitutte bulungi mu maaso nga bakolera wamu.

Omulabirizi Matovu yeebazizza Mulindwa ne banne olw'okukwatagana kwe balina mu famire ate n'okutambuza eby'obugagga bya kitaabwe nga tebabitunze n'abasaba okugendera awo.

Omuvannyuma lw'okusabira omwoyo gw'omugenzi mu kkanisa e Kalasa bagenze ku biggya e Kabira we yaziikibwa emyaka ebiri egiyise ne baganzika ekimuli ku malaalo. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo

Abatudde okuva ku kkono; Godfrey Nyola, Saul Kizito, Isaac Ngobya ne Pasita Paul Musisi ate abayimiridde okuva ku kkono; Kennedy Lubogo, Edward Baguma, Jimmy Ssekandi

Aba 'Former Footballers In...

Abaaguzannyako abaabaddewo kuliko; Saul Kizito (Nile FC), Isaac Ngobya (Bell), aba Express okuli Kennedy Lubogo,...

Kamaanyi eyatolosa Ssekabak...

Dan Kamaanyi, eyatolosa ssekabaka Muteesa II ekibabu kya Milton Obote eyalumba olubiri mu 1966 ng'ayagala okumutta,...

Muyigire ku bajulizi abakki...

MUK'OMULABIRIZI wa West Buganda Can.Elizabeth Julia Tamale y'ayigirizza mu kusaba okw'okujjukira abajulizi ba...