TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kkamera za Bukedde zaanise abapoliisi abalya ssente za 'bondi'

Kkamera za Bukedde zaanise abapoliisi abalya ssente za 'bondi'

Added 8th April 2019

ABOOLUGANDA lwa Ssematimba, twabasanze bonna basobeddwa ng’ekyokukola kibabuze nga bagamba nti ssente emitwalo 18 poliisi ze yabadde yeetaaga okumuyimbulira ku kakalu kaayo akamanyiddwa nga “Police Bond” zibabuze.

 Ofiisa wa poliisi Ndyanabangi ng'aweebwa ssente.

Ofiisa wa poliisi Ndyanabangi ng'aweebwa ssente.

Olwokubiri lwonna baalumaze ku poliisi y'e Wankulukuku eyakwata Petero Ssematimba ow'e Kabowa ku musango gw'obutasasula ssente za mmotoka gye yapangisa.

Oluvannyuma baafunye ssente 160,000/- kyokka poliisi n'egaana okumuyimbula nga teziweze 180,000/-.

Ku Lwokusatu lwe twabasanze nga batabuddwa eka ne mu kibira nga banoonya ssente ezibulayo 20,000/- basobole okuyimbula omuntu waabwe ku kakalu ka poliisi.

Ku ssaawa nga 6:00 ez'emisana baasobodde okuweza ssente era abatwala poliisi y'e Wankulukuku emanyiddwa nga Kabowa Community Police oluvannyuma ne bayimbula Ssematimba.

Aba famire ya Ssematimba baavuddewo bakukkulumira abaserikale ba poliisi abaabaggyeeko ssente ezo zonna okuwa omuntu waabwe "Police Bond" ate nga bateekeddwa kugifunira ku bwereere, awatali kusasula okusinziira ku mateeka poliisi kw'etambulira.

Embeera Ssematimba gye yayiseemu okufuna eddembe lye Bannayuganda bangi gye bayitamu nga batwaliddwa ku poliisi ez'enjawulo.

KKAMERA ZA BUKEDDE ZAANIKA ABAPOLIISI ABAGGYA SSENTE KU BANTU

Embeera eyo y'eyawalirizza ttiimu ya Bukedde okusindika ttiimu ng'erina ne kkamera ez'ekyama okuzuulira ddala ebibeera ku poliisi. Ttiimu yasazeewo amakanda egateere ddala ku poliisi y'e Wankulukuku (Kabowa Community Police) mu Lubaga, Kampala kubanga awo abooluganda lwa Ssematimba we baabadde bakaabira amaziga.

Rashid Mugenyi yayimbuddwa era abamulumiriza nti abadde atigomya ekitundu baamwekangidde ku Kabowa ng'alya butaala.

OC CID George Ndyanabangi ne I.O eyabadde anoonyereza ku musango ogwo Yokolamu Olaru baasoose kuweebwa ssente okuyimbula Mugenyi.

Rashid Mugenyi 23, asiiga cuteekisi n'okuyooyoota enjala kyokka abamu ku batuuze e Kabowa bagamba nti guno omulimu yeekwekamu bwekwesi, ebiseera ebisinga abeera mu bibinja by'abavubuka abamenyi b'amateeka ababeera mu bubbi.

BYATANDISE BITYA?

 

Ttiimu ya Bukedde yazzeeyo ku poliisi ku Lwokuna, kyokka yasanze Ssematimba yaakayimbulwa. Ttiimu yattottodde bw'eti ku byabaddewo.

Twabuuzizza amannya g'omusibe omulala yenna ali mu kaduukulu, ne batuwaayo erya Rashid Mugenyi. Twagenze butereevu mu ofiisi abasibe mwe bakolera siteetimenti okubuuza eyabadde akola ku musango gwa Mugenyi.

Baatutegeezezza nti I.O (Investigating Officer) mu musango ogwo ye Yokoramu Olaru wabula yabadde afulumyemu ng'agenze ku kyamisana.

Twamulinze akomewo era olwabadde okudda ne tumunnyonnyola nti tuli bantu ba Mugenyi era twagala ayimbulwe ku kakalu ka poliisi.

Awatali kubuuza bingi, yatugambye nti, fayiro ya Mugenyi yabadde ewedde era yabadde amutwala mu kkooti essaawa yonna.

Twamutegeezezza nti twabadde tusaba amuyimbule ku kakalu ka poliisi era wano we yatusindikidde ewa makama we, akulira okunoonyereza ku buzzi bw'emisango ku poliisi eno, George Ndyanabangi nti y'asalawo abanaayimbulwa n'abanaasigala mu kaduukulu ku poliisi eyo.

Twayiseewo ne tugenda mu ofiisi ya Ndyanabangi. Yatubuuzizza omusango omuntu waffe (Mugenyi) gwe yazza. Amazima twabadde tutamattama era twamugambye nti, gwabadde gwa kulwana.

Yatutegeezezza nti, ali ku musango mulala n'atusindika awali akaduukulu mwe bakuumira abasibe nti twebuulize Mugenyi atubuulire omusango gwe yazza. Twabuuzizza Mugenyi n'asooka atugamba nti baamusanga ku kikomera nga yeesigamye ne bamusibako omusango gw'okubba enkoko olwo ne tuddayo ewa Ndyanabangi.

Twamunnyonnyodde Mugenyi bye yabadde atugambye naatugamba nti bwabadde bulimba nga bw'akkaatiriza nti; "Haaa, oyo mubbi wa lulango…." Yamutumizza naamulagira okwogera amazima era Mugenyi n'ategeeza nti baamukwata abbye enkoko.

Ndyanabangi yasoose kutugamba nti, okuyimbula Mugenyi ku kakalu ka poliisi, yabadde yeetaaga 100,000/- ng'agamba nti za nkoko gye yabba; kyokka oluvannyuma lw'okwegayirira n'okumukaabira obwavu, yakkirizza okutwala 50,000/-.

Ndyanabangi olwamukwasizza akapapula ak'emitwalo etaano, n'akakwata n'aggula "dduloowa" ye n'akasuula omwo, n'asibawo. Awo kwe kutulagirira we tulina okugula empapula za "Police bond" kwe bagenda okuwandiika nga bamuyimbula.

 

Zino, ziteekeddwa kubeera za bwerere kyokka ebusukka kkubo ku ssundiro ly'amafuta, we wali omuvubuka eyakwata ttenda okuzitunda.

Buli lupapula alutunda 500/- era twabadde tulina okugula empapula bbiri. Olwafunye empapula ne tuddayo ewa Ndyanabangi, yatulagidde tuzitwalire Yokoramu azijjuze amale azimuddizeeyo azikubeko sitampu.

Mugenyi mu kifaananyi

Olwamaze okujjuzza empapula, Yokoramu yatutegeezezza nti, yabadde tasobola kuyimbula musibe "waffe" nga tetusoose naye kumutereeza.

Yagambye nti, yabadde alina okwanjula lipooti eri mukama we. Wano, twamutegeezezza nti mukama we twabadde tumaze okumukolako olwo naasaba naye tumutunulemu.

Yabadde asabye emitwalo ebiri kyokka twamumatizza ne tumuwa omutwalo gumu.

Ono ye olwazimuwadde n'azisonseka wansi w'empapula za fayiro ze yabadde ategeka.

Mugenyi, baamutadde ne bamulagira okuddayo okweyanjula ku Lwokusatu lwa wiiki ejja.

Amangu ddala nga yaakayimbulwa yatutegeezezza nti okuva lwe yakwatibwa, teri muntu we yajja ku poliisi era yeewuunyizza okulaba abantu b'atamanyi nga bazze okumweyimirira era ne bamuwonya ekkomera.

Kyokka yagambye nti mu kaduukulu teri wa poliisi abadde amusaba ssente kubanga ababadde bamulaba nga talina ky'alina ate nga teri na muntu yenna amukyalira, gwe bayinza kwogera naye ku nsonga ya ssente.

MUGENYI GY'ASULA BAMUKAABA

Resty Namubiru Kabuye omutuuze w'e Kabowa mu Central zooni ye nnannyini nkoko ezigambibwa nti Mugenyi ze yabba. Yalabise nga yeekanze nga tumutegeezezza nti Mugenyi kati ali bweru, poliisi yamuyimbudde.

Namubiru yagambye nti, Mugenyi lwe yabba enkoko ze, teyali waka yategeezebwa akomyewo nti waliwo eyakwatiddwa ng'abbye enkoko.

"Nagenda ku Poliisi enkoko ne nkola siteetimenti era n'enkoko ne ngiggyayo." Namubiru bwe yayogedde n'agattako nti: Eky'okuyimbula omuvubuka oyo tekyampisizza bulungi kuba obubbi bususse mu kitundu.

Nze nannyini nkoko n'abajulizi abaamulaba kiteeka obulamu bwaffe mu matigga era kati simanyi kiddako. James Ssenfuka ssentebe w'ekitundu Mugenyi gy'asula mu Kabowa Central era mwe baamukwatira n'enkoko yagambye nti, abatuuze ku kyalo baamutegeeza nti baali bakutte omubbi w'enkoko.

 esty amubiru Resty Namubiru

 

Agamba nti, engeri abatuuze be gye baali baludde nga beemulugunya ku bababbira enkoko, yabadde tasuubira Mugenyi kuyimbulwa mangu bwatyo nga tavunaaniddwa.

POLIISI ERAMBISE KU BYA "BONDI"

Dayirekita w'ekitongole ekikwanaganya poliisi n'omuntu wa bulijjo, AIGP Asan Kasingye agamba nti, omuserikale alya ssente ku muntu okumuwa "Bondi" aba azzizza musango gwa kulya nguzi.

Agamba nti, omuntu bwaba akwatiddwa abeera ateeberezebwa okuba nga yakoze omusango era bwaba akyateberezebwa nga tannatwalibwa mu kkooti amateeka gamutunuulira ng'atalina musango era ng'alina eddembe okuyimbulwa ku kakalu ka poliisi asigale nga yeeyanjula okutuusa ng'okunoonyereza kuwedde ne bamutwala mu kkooti.

Yagambye nti okuggyako mu mbeera eteewalika, wabula mu nkola eya bulijjo, owa poliisi bw'aba tannafuna bujulizi bumala kutwala muntu oyo mu kkooti ate ng'omuntu oyo awezezza oba anaatera okuweza essaawa 48 mu kaduukulu, omuntu oyo abeera alina okuyimbulwa ng'olaba nti ogenda kusukka mu ssaawa 48, oba olina okumuyimbula ku kakalu ka poliisi n'aweebwa ennaku kw'alina okusigala nga yeeyanjula ku poliisi eyo nga n'okunoonyereza bwe kumalirizibwa.

Kasingye yagambye nti, bafunye okwemulugunya kungi ku bantu abaggyibwako ssente okufuna akakalu ka poliisi.

Yagambye nti boogedde enfunda eziwera, basomesezza abaserikale, boogedde ku leediyo ne bagattako n'enkiiko naye abantu bakyaggyibwako ssente z'akakalu ka poliisi.

Yagambye nti, oluusi bakitwala nti abantu bamanyi naye baakizudde nti tebamanyi era bakyalina omulimu okwongera okusomesa abantu.

Yagambye nti, singa omuntu yenna aggyibwako ssente, okufuna akakalu ka poliisi, beekubire enduulu ewa DPC oba RPC bwebeekengera nti bonna bali mu lukwe, beekubire enduulu mu ofiisi endala okuli eya RDC n'eya Lt. Col. Edith Nakalema eyateekebwawo.

Pulezidenti Museveni okulwanyisa obuli bw'enguzi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Anite ku ddyo ng'atwalibwa mu mmotoka ya poliisi eyamututte e Mukono

Eyatemudde mukwano ggwe n'a...

POLIISI eyogezza omukazi eyasse mukwano gwe n’amubbako omwana e Mukono n’amutwalira muganziwe mu bizinga by’e Kalangala....

Balooya ba Kyagulanyi, George Musisi (ku kkono) ne Fredrick Robert, muganda wa Kyagulanyi, Fred Sentamu Nyanzi (wakati), omuwandiisi wa NUP, Gen. David Lewis Rubongoya, n;omwogezi wa NUP, Jowel Senyonyi (ku ddyo).

Poliisi by'esazeewo ku kuva...

POLIISI ekkirizza okuva mu maka ga Kyagulanyi wabula n'etegeeza nti yaakusigala ng'emutambulizaako amaaso. Omwogezi...

Pulezidenti Museveni lwe yatongoza ekkolero lya METUZHONG erikola bbaasi e Namanve nga March 9, 2019.

Gavumenti by'egenda okukola...

OKUTANDIKA okukolera wano ebintu ebibadde bisuubulwa ebweru w’eggwanga n’okwongera ku bungi bw’ebintu ebitundibwa...

Fred Enanga.

Poliisi eyigga omuwala eyag...

POLIISI etandise okunoonya omuwala, Unique Kobusigye gw’erumiriza okusaasaanya amawulire ku kyasse Omusumba w’e...

Isreal

Boogedde bye balabye mu mya...

Micheal Orahi Osinde, omwogezi w’omukago ogutaba ebibiina byobufuzi byonna mu ggwanga ogwassibwawo mu 2010 agamba...