
Sipiika Rebecca Kadaga
Mu bubaka obw'eddoboozi lye, Kadaga yakakasizza Bannayuganda nti ssi muyi era tali mu Spain nga bwe byogerwa wabula akyaliyo mu ddwaaliro lya Aga Khan e Kenya n'asiima abasawo ab'omu Uganda ne Kenya okutaasa obulamu bwe.
Buno bwe bubaka bwa Kadaga mu bujjuvu: "Bannayuganda bannange mbalamuzizza.
Nga mwenna bwe mumanyi, nnalwalamu nga March 21, 2019 bwe nnali nkomawo mu ggwanga okuva ebweru ku mirimu emitongole gye naliko ku lwa Palamenti n'eggwanga.
Nnaliko mu ddwaaliro lya Nakasero Hospital n'oluvannyuma ne bannyongerayo mu Aga Khan Hospital mu kibuga Nairobi.
Ndi musanyufu okubategeeza nti ku lw'ekisa kya Mukama Katonda n'obukugu bw'abasawo b'omu Uganda ne Kenya, kati ndi bulungi ddala.
Njagala okutwala omukisa guno okwebaza bannansi bannange n'abantu ba Katonda bonna ab'ekisa okwetooloola ensi yonna ababadde bansabira okussuuka n'okusingira ddala mu bonna, Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni afuddeyo ennyo naddala okuwaayo obudde n'annalambulako mu ddwaaliro e Nakasero ne Aga Khan e Nairobi.
Ntuusa n'okusiima kwange eri Mukyala Janet Museveni; Kyabazinga wa Busoga William Gabula Nadiope, Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II ne Nabagereka Sylvia Nagginda.
Njagala era n'okusiima Bannaddiini ab'enzikiriza zonna, ababaka ba Palamenti, abakungu ba gavumenti ne Bannayuganda mwenna olw'okufaayo ku bulamu bwange.
Ekisembayo, waliwo ebyogerwa naddala mu mawulire n'emikutu egyempuliziganya ku bulamu bwange nti ndi Spain era ndi muyi, naye ebyo byonna ssi bituufu.
Ngajala okukakasa eggwanga nti kyali mu ddwaaliro lya Aga Khan Hospital era nsuubira okusiibulwa amangu ddala.
Nneesunga okuddamu okubeera obulungi ddala nziremu okuweereza Bannayuganda." SIPIIKA REBECCA KADAGA