TOP
  • Home
  • Diaspora
  • Ssente zitabudde Bannayuganda ababeera e Sausi ne beerangira ebisongovu

Ssente zitabudde Bannayuganda ababeera e Sausi ne beerangira ebisongovu

Added 9th April 2019

Bannayuganda babiri ababeera e South Africa baawukanye lwa ssente omu ze yawa munne nga basuubira okukola bizinensi emu kyokka munne n’adduka nazo.

 Shakib (ku kkono) ne Sharif ssente be zitabudde

Shakib (ku kkono) ne Sharif ssente be zitabudde

Omuvubuka amanyiddwa nga Sharif (24) agamba nti yawa munne Cham Shakib Lutaaya obukadde 60 eza Uganda nga zino baali bateesezza okukolamu bizinensi.

Agamba nti okusinziira kumyaka  8 gye bali bamaze nga baamukwano era nga bakolagana yamwesiga nnyo era okumuwa ssente tebakiteeka bumuwandiike.

Nga wayiseewo wiiki bbiri, Shakib yaggyako essimu ye nasenguka gye baali babeera n'adduka. Wabula ekyamala Sharif enviiri kumutwe, kwe kulaba ebifaananyi by'emmotoka empya ekika kya BMW ku mukutu gwa Shakib ogwa Facebook ng'ataddeko obubaka obwewaana nti yayingizzaawo ekyuma ekipya.

"Wiiki nga ssatu emabega, nnamuwa ssente eziwera obukadde 60 ze twali tukkaanyaako okukolamu bizinensi kyokka n'adduka nazo kati ansindikira abantu abantiisatiisa n'okunvuma ku sente ezange. Shakib mulyazamanya naye nga ku myaka munaana gye tumaze nga tukolagana lwaki ankola ekintu nga kino?", bw'atyo Sharif bw'agamba.

Ebyo nga biri awo, waliwo ebigambibwa nti abamu ku Bannayuganda abeeyita abasama e Sausi tebalina mirimu gitegeerekeka ndowooza engeri gye batandise okwebba, bajja kwogera ne byama byabwe.

Wabula ye Shakib agamba nti tatwalangako ssente za Sharif , alabika amunoonyamu bibye.

"Oyo simumanyi ayagala kunkolelako amawulile ate nessente ezo sizimanyi, simusindirangako bantu bamuvume. Wabula kyemmanyi nti nze eyamwaniriza e Sausi n'ekirala ssente ezo z'agamba nnyingi nnyo teri muntu asobola kuziwa munne nga teri kiwandiko kyonna," Shakib bw'agamba.

Ayongerako nti Sharif ayagala kumwonoonera linnya ng'entabwe yava dda ng'abakyabeera wamu ekirowozesa Shakib nti Shafik alina ennugu kyokka ate ye yamuyamba.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...