TOP

Bakutte ababadde batema ebibira

Added 10th April 2019

Akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango ku poliisi y’e Buwama, Paul Nabende yagambye nti abakwate bagenda kuggulwako omusango gw’okusaanyaawo obutonde bw’ensi era bagenda kutwalibwa mu kkooti bavunaanibwe.

 Abamu ku baakwatiddwa.

Abamu ku baakwatiddwa.

ABASAJJA abaasangiddwa nga batema emiti mu bibira bakwatiddwa ne baggalirwa.

Peter Mukasa 29 ow'e Rakai, Semeo Kalege 27 ow'e Buyaaya ne Benard Kafuluma 20 nga babeera mu kifo kye kimu be baakwatiddwa  mu ggombolola y'e Buwama mu Mpigi ne baggalirwa ku poliisi y'e Buwama ku misango gy'okusaanyaawo ekibira kya Gavumenti.

Omukuumi w'ebibira mu ggombolola y'e Buwama, Bonny Musisi yagambye nti abasajja bano baasangiddwa lubona nga batema emiti mu kibira kya

Kalandazzi e Mitala Maria mu ggombolola y'e Buwama era n'ayita abaserikale abaabataayizza nga bagezaako okudduka ne babakwata. 

Bano baatwaliddwa ku poliisi ye Buwama gye baggaliddwa era Musisi n'ategeeza nti baludde nga basaawa ekibira n'olutobazzi oluliraanye ekibira kyokka nga buli lwe babasana nga badduka.

Wabula omu ku baakwatiddwa Peter Mukasa obwedda alaajana nti ye baamuleese okuva e Rakai kusomba miti ng'anoonya ssente za kweyimirizaawo nga teyategedde bigenda mu maaso.

Akulira okunoonyereza ku buzzi bw'emisango ku poliisi y'e Buwama, Paul Nabende yagambye nti abakwate bagenda kuggulwako omusango gw'okusaanyaawo obutonde bw'ensi era bagenda kutwalibwa mu kkooti bavunaanibwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aba NRM e Wakiso baagala Mu...

ABA NRM mu Wakiso basabye Pulezidenti Museveni alung’amye ababaka nga balonda Sipiika wa Palamenti. Baagambye nti...

Abazinyi nga basanyusa abantu.

Kibadde kijobi nga Fr. Kyak...

EMBUUTU zibuutikidde ekifo ekisanyukirwamu ekya John Bosco Ssologgumba e Lukaya mu Kalungu. Zino zipangisiddwa...

Bannyabo

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde ...

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde batugobya abaami baffe?

Akeezimbira

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto en...

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto entuufu gy'osaanidde okuyiwa ku kizimbe.

Bannyabo; Nakazinga ng'annyonnyola

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe b...

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe bakugaana omwami weeyisa otya?