TOP

Abasse omukago ne DP bamalirizza olusirika

Added 10th April 2019

Abasse omukago ne DP bamalirizza olusirika

EKIBIINA kya DP kitutte abakulembeze be kyegasse nabo mu mukago gwa DP BLOCK mu lusirika lwa nnaku bbiri okutema empenda ku ngeri gye bagenda okusimbawo omuntu omu ku buli kifo.

Bakkiriziganyizza nti buli kimu bateekwa okukikolera awamu omuli okukuba enkiiko okwetoOloola eggwanga n'okwongera okusikiriza ebibiina ebirala okubeegattako. Baatudde ku Flora Hotel e Wakiso. Lwatandise ku Mmande ne lukomekkerezebwa eggulo nga lwetabiddwaamu ebikonge bya DP n'abalala okwabadde Abed Bwanika ne Michael MabikKe.

BAGGUDDE OMUSANGO KU MAO Baabadde bakyateesa ekiwayi ky'abavubuka ne kiggulawo omusango ku DP nga balumiriza nti, Pulezidenti Nobert Mao avuluze ekibiina bw'agAanye okutegeka okulonda bajjuze ebifo by'abakulembeze abazze bafa.

Rajab Ssenkubuge eyakulembeddemu banne yalambise ensonga nti ebifo bingi mu kibiina ate ebinene birimu bamyuka ekikontana n'amateeka. Yalaze nti Ssaabawandiisi Mathias Nsubuga yafa, ssentebe w'ekibiina Baswaleh Kezaala yagenda mu NRM, omuwanika Issa Kikungwe naye yafa.

Yategeezezza nti ayagala kkooti ewalirize Mao n'abantu be ttabamiruka balonde abakulembeze. Yagambe nti mu ttabamiruka baagala bakyuse ssemateeka baggyemu obuwaayiro obumu. "Twagala tusseewo akakiiko k'ebyokulonda ak'enjawulo mu kibiina okwawuka ku kabaddewo.

Twagala Kampala afuulibwe gutundu ogunene okwawuka ku disitulikiti endala. Njagala ssemateeka akkirize omuntu yenna omulala okwesimbawo ku bwapulezidenti bw'eggwanga wadde ssi y'akulira ekibiina", Ssenkubuge bwe yagambye. Kyokka omuteesiteesi w'ekibiina Sulaiman Kidandala Sserwadda yategeezezza nti yayanjudde dda enteekateeka egenda okugobererwa mu kulonda.

Yagambye nti bagenda kutandikira ku kusomesa bammemba mu misomo era enteekateeka etandika nga May 2, 2019 . "Abagenze mu kkooti kati tebakyalina nsonga kubanga kye baagala twakikozeeko dda", Kidandala bwe yagambye. Yategeezezza nti engeri gye beegasse n'ebibiina ebirala bateekwa okukola ebintu nga tebataddeewo njawukana yonna era abali mu kkooti baveeyo.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...