TOP

Famire bagiwadde obutwa bbebi n'afa

Added 11th April 2019

Famire bagiwadde obutwa bbebi n’afa

 Maama w’abaana Namubiru ng’ali ku kitanda.

Maama w’abaana Namubiru ng’ali ku kitanda.

OMUTEMU atannategeerekeka alungidde famire ya bantu bana obutwa mu nva ne buttirawo bbebi, abaabusimattuse ne batwalibwa mu ddwaaliro nga biwalattaka. Bbebi eyafudde ye Lawrence Bugembe ow'emyezi mwenda gyokka.

Abalala abaatwaliddwa mu ddwaaliro e Nkozi nga bataawa ye; Catherine Nampiima 2, Vanessa Kisakye 12 ne nnyaabwe Nuur Namubiru. Bino byabaddewo mu kiro ekyakeesezza Olwokubiri e Teketwe mu ggombolola y'e Buwama mu Mpigi, omuntu ataategeerekese bwe yasooberedde famire ya Namubiru 30, n'alunga obutwa mu nva zebinyeebwa bye baalidde ekyeggulo n'abaana be basatu.

Bba wa Namubiru yasimattuse kubanga yabadde agenze Kampala. Namubiru n'abaana be baasuze bataawa kyokka zaabadde ziwera ssaawa nga 4:00 ez'oku makya baliraanwa ne balaba nga taggulawo kyokka nga bulijjo akeera kwe kugezaako okukonkona nga tebawulirayo kanyego. Baasazeewo ne bamenya oluggi ne basanga nga tewali asobola kwogera kyokka ng'ebbujje erisembayo obuto lyafudde dda.

Wano abatuuze baatemezza ku poliisi y'e Buwama kyokka baagenze okwekebejja abali obubi nga bavaamu ebyovu mu kamwa n'okuzimba embuto ekibaviiriddeko okutebereza nti baabawadde obutwa.

Poliisi y'e Buwama yatutte abalwadde mu ddwaaliro e Nkozi nga bataawa omulambo gwa bbebi ne gutwalibwa e Mulago okugwekebejja okuzuula ekika ky'obutwa obwaweereddwa famire eno. Akulira okunoonyereza ku buzzi bw'emisango ku poliisi y'e Buwama, Paul Nabende yagambye nti baasanze ebintu mu ntamu yenva zebinyeebwa aba famire ze baaliddeko nga byefaanaanyiriza obutwa.

OMUSAWO AKAKASIZZA OBUTWA Akulira abasawo b'eddwaaliro ly'e Nkozi, Harriet Baker Nalwoga akakasizza nti abalwadde baawereddwa butwa era bakyagezaako okububanuunamu. Ayongeddeko nti, abalwadde bakyali mu mbeera mbi naddala omwana ow'emyaka ebiri (Catherine Nampiima) atannadda ngulu okuva lwe baamututte mu ddwaaliro kyokka nga balwana okutaasa obulamu bwe.

Taata w'abaana bano Sikyomu Luyambi agamba nti abadde talina lutalo na muntu yenna ku kyalo ng'ate ne mukazi we Namubiru talina mpalana yonna era n'asaba poliisi ekole okunoonyereza bazuule ekituufu. N'agamba nti bwe baba baawereddwa butwa kimutabudde kubanga tatamanyi yakikoze.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bawewenyudde omukazi kibook...

Aikolu ne muto we abatuuze ababakubye kibooko nga baagala boogere ensonga ebatulugunyisa abaana batuuke n’okujjula...

Ab'e Nkozi badduukiridde eb...

Polof. Chrysostom Maviiri e Kankobe Senero mu muluka gw’e Nindye mu ggombolola y’e Nkozi mu Mpigi n’asaba abavubuka...

 Minisita Kanyike e Namawojjolo ng’ali mu kulambula pulojekiti z’abalema mu Mukono.

Minisita Sarah Kanyike muny...

Minisita omubeezi ow’abakadde n’abalema mu ggwanga, Sarah Kanyike yalaze obutali bumativu olwa disitulikiti eziwerera...

OKUSIIGA ETTOSI: Akalombolo...

Ku makya ennyo, Abataka basatu okuva ku kyalo Bunanyuma mu ggombolola y’e Bushika mu disitulikiti y’e Buduuda...

Asula mu nnyumba y'emizigo ng'eno olina okuba omutetenkanya ennyo.

By'olina okukola okweyagali...

OKUNOONYEREZA kulaga nti abantu abasinga mu bibuga basula mu nnyumba ntono okugeraageranya ku famire ze balina....