TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abali ku gw'okutta Kaweesi bagguddwaako emisango emiggya

Abali ku gw'okutta Kaweesi bagguddwaako emisango emiggya

Added 11th April 2019

Abali ku gw’okutta Kaweesi bagguddwaako emisango emiggya

 Abasibe Higenyi (wakati) ne Mbaziira ku mpingu nga batuusibwa ku kkooti e Mukono.

Abasibe Higenyi (wakati) ne Mbaziira ku mpingu nga batuusibwa ku kkooti e Mukono.

ABAVUNAANIBWA ogw'okutta Andrew Felix Kaweesi bagguddwaako emisango emirala mukaaga gyonna nga gyekuusa ku nsonga z'okukukusa abaana. Kiteeberezebwa nti baabagya mu disitulikiti ez'enjawulo ne babatwala mu bifo ebirala n'ekigendererwa eky'okubakozesa mu buyeekera.

Bino byabaddewo ku eggulo mu Kkooti eyeddaala erisooka e Mukono era ng'abavunaanibwa okuli Abdul Rashid Mbaziira ne Higenyi Noordin bamaze ebbanga kati lya myaka ebiri mu nkomyo.

Bateeberezebwa nti wakati wa 2016 ne 2017 mu disitulikiti okuli Busia, Mayuge, Bushenyi ne Mukono beekobaana okuwamba abaana abali wakati w'emyaka esatu n'omunaana okubayingiza mu by'obutujju.

Omulamuzi ow'eddaala erisooka mu kkooti e Mukono, Juliet Chasinga bwe yabadde abasomera emisango gino yabategeezezza nga bwe giri egya nnaggomola era nga kkooti ye, terina buyinza kugikolako n'abalagira okugitwala mu kkooti Enkulu bwe baba baagala okweyimirirwa.

Ono era yagaanye okukkiriza okusaba kwabwe kubanga bagenda kutwalibwa mu kkooti endala olwaleero ku Lwokuna okuwuliriza okweyimirirwa okulaba oba okusaba kwabwe kunakkirizibwa olw'amaanyi g'emisango egibavunaanibwa era omusango n'agwongerayo okutuusa nga 29 March 2019.

Ye Anthony Wameri okuva mu Wameri and CO Advocates puliida w'abakwate, yategeezezza nga bwe kimwewuunyisizza okulaba nti ate abantu be babagguddeko emisango emirala gy'abadde tasuubira era nga kino asuubira nti kikoleddwa n'ekigendererwa eky'obutayagala kubata.

Yayongeddeko nga kati bw'agenda okubakana n'eddimu ly'okubasabira okweyimirirwa buto, ku misango gino egyakabaggulwako n'ategeeza nga bw'alina essuubi ery'okubayimbula beewozeeko nga bava wabweru.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssennyonga musajja wa buggy...

Endiga z'omugenzi Augustine Yiga katono ziffe essanyu bwe zirabye ku musajja wa Katonda Bro. Ronnie Makabai owa...

Ab'e Kawempe balaajanye ku ...

okulaajana kuno baakukoze oluvannyuma lwa Ahmed Lukwago eyeegwanyiza ekifo ky’obwa kkansala bw’omuluka guno okukulemberamu...

Wakayima atangaazizza ku mp...

"Nze Wakayima Musoke Hannington Nsereko era abo abatidde akalulu bakkakkane kuba ffirimbi yavugga dda Kati tulinze...

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...

Paasita Bujjingo ng'agumya Jengo, mutabani w'omusumba Yiga

Ebiri mu katambi ka Paasita...

Ku Ssande nga October 25, 2020, Ssenyonga yasinziira mu kusaba mu kkanisa ye n’alumba abasumba ab’enjawulo omwali...