TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abatuuze batabukidde ssentebe waabwelwakukolagana na bayaaye

Abatuuze batabukidde ssentebe waabwelwakukolagana na bayaaye

Added 11th April 2019

Abatuuze batabukidde ssentebe waabwelwakukolagana na bayaaye

 Kikomeko omuwandiisi w'ekyalo mu lukiiko.

Kikomeko omuwandiisi w'ekyalo mu lukiiko.

ABATUUZE balumirizza ssentebe waabwe James Musoke okweyisa mu ngeri etesaana okuli okuteeberezebwa okukolagana n'abayaga n'okweddiza obuyinza bwonna obw'akakiiko k'ekyalo.

Bino biri ku kyalo Gongobe mu disitulikiti y'e Mukono. Baasinzidde mu lukiiko lw'ekyalo ku Ssande era omuwandiisi ku lukiiko lw'ekyalo Kikomeko Bukanja n'ategeeza olukiiko olwabaddemu abakulembeze b'eggombolola y'e Goma ne bakansala nti, ssentebe awandiikira abantu ebbaluwa eziraga nti, be bannannyini bibanja mu linnya ly'omugenzi Bukanja eyaguza abantu abasinga ettaka ku kyalo kino.

Yagambye nti beeyambisa omukisa ogwo okwewola ensimbi mu bbanka kyokka oluvannyuma ne badduka. Yabadde akyayogera akabinja k'abavubuka ne kajja okutandika olutalo ku baabadde mu lukiiko nga basumulula emizindaalo okukubagana n'okwerangira ebisongovu.

Abatuuze bateebereza nti, bano be bamu kw'abo abatigomya abantu ekiro kyokka nga tewali abakuba ku mukono, wabula oluvannyuma embeera yazze mu nteeko olukiiko ne lugenda mu maaso.

Yayongeddeko nti waliwo maneja omu okuva mu bbanka ya Equity bwe yabalumba okubabuuza ku mutuuze omu gwe baateerako emikono okwali ogugwe ye ng'omuwandiisi w'ekyalo kyokka nga yali tabimanyiiko. "Ssentebe waffe muntu mukumpanya, yatuuka ne ku ssa erijingirira emikono gyaffe n'agiteeka ku ndagaano ez'obufere.

Bwe namubuuza ekyali kimukozesezza kino yantegeeza nti, agenda okufuba okulaba ng' ayamba abantu okugaggawala n'okuba obulungi:, Kikomeko bwe yagambye. Nsubuga Charles omumyuka wa ssentebe yategeezezza nga Musoke bwe yeddiza obuyinza bwabwe bwonna era baawulidde nti, ateekateeka kubagoba alonde abalala.

"Mmaze ebbanga nga mmwegayirira tutuuze enkiiko z'ekyalo naye ng'abeera n'ebyokwekwasa buli kiseera. Atambula ne sitampu buli w'alaga era bwe wabeerawo ebintu ebyenkulaakulana ebijja mu kitundu ne wabaawo ebbaluwa ezimuweebwa zikoma mu ofiisi ye.

Tubimanya luvannyuma nga n'omukissa gwaggwaawo. Twamwegayirira okufuna ofiisi ey'awamu n'atutegeeza nti, oba twagala tukole eyaffe. Embeera eno tugikooye twetaaga okugisalira amagezi", Nsubuga bwe yannyonnyodde. Abamu ku batuuze ab'enjawulo beemulugunyizza olw'obumenyi bw'amateeka obusukkiridde ku kyalo naddala obubbi nga mu kiseera kino tebakyalina buddukiro.

Ye ssentebe w'eggombolola e Goma, Lukeman Ssegayi yagumizza abatuuze nti, ye n'abakulembeze abalala bagenda kugoberera ensonga eno mu mitendera emituufu okumuggya mu buyinza wabula ssi nga bbo bwe baabadde basuubira era naye alina okuweebwa omukisa okuwa oludda lwe.

Ssentebe w'ekyalo James Musoke ataalabiseeko ng'asinziira ku ssimu yategeezezza nti, ensonga ezimuvunaanibwa tazimanyi naye yasuubizza okutuuza olukiiko lw'ekyalo bazoogereko.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.