TOP

Aba URA balagiddwa okunnyonnyola ku buwumbi 14

Added 14th April 2019

ABABAKA ba Palamenti abatuula ku kakiiko ka COSASE akabuuliriza ku bitongole bya Gavumenti, balumirizza ekitongole ekiwooza omusolo ekya URA okubeera ne kyekubiira mu nkola y’emirimu mwe banyigiririza abatono.

 Ibrahim Kasozi (Makindye East) amyuka ssentebe w'akakiiko ka COSASE ng'ayogera ne Doris Akol ate ayimiridde ye David Abala (Ngora) nga bali mu kakiiko ka COSASE.

Ibrahim Kasozi (Makindye East) amyuka ssentebe w'akakiiko ka COSASE ng'ayogera ne Doris Akol ate ayimiridde ye David Abala (Ngora) nga bali mu kakiiko ka COSASE.

Ibrahim Kasozi (Makindye East) amyuka ssentebe w'akakiiko yeemulugunyizza ku lukalala lw'amakampuni agaafulumizibwa ekitongole ekya URA mu 2010 lwe baateeka mu mawulire nga babalanga obutasasula misolo.

Yagambye nti olukalala lwaliko amakampuni g'abanene mangi okuli n'aga Gavumenti, kyokka kyamwewuunyisa okulaba nga ebintu bya Haji.

Meddie Ssebaggala owa ‘Ssebaggala and Sons' byokka bye byawambibwa. Kyokka akulira URA, Doris Akol yakiwakanyizza n'agamba nti eno si nkola ya kitongole n'ategeeza abalala abataaboyebwa bintu baamala ne basasula emisolo egyali gibabanjibwa. Ababaka baabadde bayita mu lipooti y'Omubalirizi w'ebitabo bya Gavumenti ey'omwaka gw'ebyensimbi ogwa 2013/2014.

Ababaka baakizudde nti waliwo obuwumbi 14 obwabadde tebulagibwa ngeri gye bwasaasaanyizibwamu era URA yaweereddwa okutuuka nga April 23, 2019 babeere nga bamaze okuleeta bwiino azikwatako.

Akol yaleese ebiwandiiko eby'enjawulo okuli endagaano ze bazze bakola n'abawi b'emisolo egy'enjawulo, ng'obukakafu obulaga nti tebamala gagwira bantu ne babawambako ebyabwe nga tebategedde.

Eky'okubeera nga kkampuni nnyingi zikyalemeddwa okudda ku nkola ya 'digito' kwe bakozesereza nnamba ya TIN, kibalemesezza okugoberera obulungi ensasula y'emisolo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaana nga bagumbye ku

Bakubye ssengaabwe mu mbuga...

ABAANA batutte ssengabwe mu kakiiko k'eggombolola y'e Kyazanga nga bamulumiriza okubawuddiisa ne yezibika obukadde...

Komakech n'ebizibiti bye ku poliisi y'e Kawanda.

Abadde yakayimbulwa e Luzir...

Komakech ategeezezza nga bwabadde agenda okufa enjala nga yali asiiga njala z’abakazi wabula okuva bwe bayimiriza...

Testing video to see if it ...

aojdjadjdadojajdndn

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo