TOP

Aba Post Bank babakunyizza ku bukadde 800

Added 14th April 2019

POLIISI ekunyizza abakulira bbanka ya Post Bank ku ssente ezisoba mu bukadde 800 ezigambibwa nti, zaabulankanyizibwa abakulu mu bbanka eyo.

 Stephen Mukweli (ku kkono) akulira bbanka ya Post Bank ne looya we ku kitebe kya bambega ba poliisi e Kibuli.

Stephen Mukweli (ku kkono) akulira bbanka ya Post Bank ne looya we ku kitebe kya bambega ba poliisi e Kibuli.

Akulira bbanka eno Stephen Mukweli yeeyanjudde ku kitebe kya bambega ba poliisi e Kibuli ku Lwokutaano n'amalayo olunaku lwonna nga bambega bamubuuza engeri ssente ezoogerwako gye zaabulamu n'engeri gy'abadde akozesaamu ofiisi ye nayo entankanibwa.

Mukweli yawerekeddwaako ba looya be oluvannyuma bambega baamutadde ku ssaawa nga zikunukkiriza mu 11:00 ez'olweggulo.

Mukweli anoonyerezebwako n'abakulu abalala mu bbanka eno mukaaga ku bigambibwa nti bakozesa bubi ofiisi zaabwe n'okubulankanya ssente eziri mu bukadde 800.

Wiiki ewedde akakiiko okuva mu State House akalwanyisa enguzi mu bakozi ba Gavumenti akakulemberwa Lt. Col. Edith Nakalema baasalako ekitebe kya bbanka eno ku Nkrumah Road nga bali wamu n'abakulu mu ofiisi y'Omubalirizi w'ebitabo bya Gavumenti ne bambega ba poliisi ne babaako ebizibiti bye baatwala mu bbanka eno.

Bino okubaawo baamala kutemezebwako abantu ab'enjawulo ku ngeri emirimu mu bbanka gye gyali gitambuzibwamu era nga ya kavuyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...

Dr. Emmanuel Diini Kisembo eyaloopa omusango gw'ebyokulonda

Omusango ogwawaabirwa akaki...

KKOOTI enkulu etuula ku Kizimbe kya Twed Towers mu Kampala etandise okuwulira omusango ogwawaabirwa akakiiko k'ebyokulonda...

Omubaka Kato ekyenda bakizz...

OMUBAKA Kato Lubwama owa Lubaga South asulirira kusiibulwa oluvanyuma lw’ekyenda ekibadde kikuumirwa ebweru w’olubuto...

Kajoba azzeemu okukwatagana...

Ku wiikendi Vipers SC yawadde omutendesi Kiwanuka endagaano ya myaka ebiri okumyuka omutendesi Fred Kajoba ng’ono...

Ennyumba Aligo gy'asulamu wamu ne bazzuku

WORLD POPULATION DAY: Abant...

KU Lwomukaaga nga July 7 lunaku lwa nsi yonna olw’obungi bw’abantu era eggulo we lwatuukidde nga mu Uganda mulimu...