TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Tebakkaanyizza ku ky'okutongoza ssente ezigulirira abalonzi

Tebakkaanyizza ku ky'okutongoza ssente ezigulirira abalonzi

Added 14th April 2019

SSENTE eziyiibwa mu bululu naddala okugulirira abalonzi zikubaganyizza ba pulofeesa n’abakulembeze ab’enjawulo empawa ng’abamu bagamba nti zitongozebwe abantu bazibawe kyere ate abalala ne balabula nti bwe kikolebwa eggwanga ligenda kuba liweddemu ensa.

 Nobert Mao (ku kkono), Hillary Muguzi (amuddiridde) nga bawuliriza Polof. Lumumba (ayogera). Amuddiridde ye Xavier Enjoyi.

Nobert Mao (ku kkono), Hillary Muguzi (amuddiridde) nga bawuliriza Polof. Lumumba (ayogera). Amuddiridde ye Xavier Enjoyi.

Polofeesa ow'ettutumu mu byobufuzi okuva e Kenya, Patrick Lumumba yasomesezza nti abantu ebyobufuzi babifudde bya kusuubula tebakyabitwala nga buweereza eri ababalonda y'ensonga lwaki ssente zifuuse ensonga mu kalulu.

Baabadde mu musomo ogwategekeddwa okukubaganya ebirowoozo oba ssente zaalitongozeddwa mu kalulu abantu bagulirirwe kyere oba zissibweko ekkomo.

Gwasasuliddwa ebibiina ebiyamba mu kulonda okuli; Alliance for Finance Monitoring, National Democratic Institute, Action Aid, National Endowment for Democracy.

Yategeezezza nti ssente zaatandika okuyiika mu kalulu amangu ddala ng'enkola ey'okuvuganya mu bibiina byobufuzi ebingi egguddwaawo.

Ebintu bingi ebireeteddwa Abazungu mu Afrika bissibwe mu nkola nga bitwalibwa nga demokulaase kyokka nga bituukiriza bigendererwa byabwe.

Yasomesezza nti ebiseera by'edda ng'omuntu eyeesimbyeewo singa agezaako okulaga nti alina ssente nnyingi abalonzi batandikirawo okumwekengera n'okubuuza ebigendererwa by'alina era ssente aziggya wa?

Yagambye nti ebyobufuzi kati tebikyali bya bwongo nga bwe gwali edda y'ensonga lwaki abalonzi balekawo omuntu ow'ensonga omugezi ne balonda atasobola wadde kwogera.

Lumumba yacamudde omusomo bwe yategeezezza nti abalonzi kati bwe balaba mmotoka y'omukulembeze naddala omubaka wa palamenti bamulaba ng'ekyuma ekigaba ssente (ATM).

Yawadde amagezi gavumenti okusomesa abantu baggye ssente mu by'okulonda ate Gavumenti ziddeyo ku nnono y'okutuusa obuweereza ku bantu baayo, abatuuze bakomye okulaba abakulembeze ng'abateekeddwa okubamalira buli kimu.

Kyokka Polof. Kihura Nkuba yayawukanye ne Lumumba n'ategeeza nti ebintu byakyuka kati ebyobufuzi byafuuka bya ssente. " Njagala ssente zitongozebwe.

Asinga okuwa abalonzi ssente gwe baba balonda. Lwaki tubikkirira amazima.

Abalonzi bwe babawa ssente tebasobola kulonda gwe baagala? Abalondeddwa bo baba tebagenda kufuna ssente era ssente bwe zikozesebwa mu kalulu ziba teziweereddwa balonzi kukulaakulanya ggwanga ? Nkuba bwe yagambye.

Yakalambidde ensi ze balaba ng'ezaakula omuli Bungereza, Amerika, China n'ebitongole byazo nga UN ne Bbanka y'Ensi Yonna tezirina wadde demokulaasi okuggyako okutabula ensi z'Abaddugavu.

Yagambye nti ayagala olunaku lw'okulonda lutwalibwe nga katale nti omuntu agenda okukuba akalulu ng'aweereddwa ssente zimuyambe okukulaakulana kubanga n'abalondeddwa baba bagenze kwongera kugaggawala.

Bannabyabufuzi abalala okuli Pulezidenti wa DP, Nobert Mao , Gen. Mugisha Muntu, akulira oludda oluvuganya gavumenti Aola Acan n'akulira okulonda mu NRM, Tanga Odoi baavumiridde abaagala okugulirira abalonzi mu kalulu kutongozebwe.

Mao yagambye nti kyabulabe kubanga eggwanga ligenda kuggwaamu ensa ebigendererwa by'okulonda bife.

Yawagidde Patrick Lumumba eyagambye nti abalonzi basomesebwe era ssente zissibweko ekkomo mu kalulu.

Ssente zikozesebwe ku bintu ebiteewalika ng'okukuba ebipande, mu ntambula n'okutegeka enkuhhaana naye okusasula abalonzi kikomezebwe.

Abakulembeze batadde omukono ku bbago erigaana okugulirira abalonzi eriyitibwa Election Campaign Financing bill 2018 lyanjulwe mu palamenti era amateeka gayisibwe agassa ekkomo ku bagulirira abalonzi.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bushira ng’akyali ne Dr. Ssebunnya. Ku ddyo, Kamya yasibye Bushira empeta ya nkusibiddaawo.

Bba wa Rema gwe yaleka afun...

OMUWALA Dr. Hamza Ssebunnya bba w’omuyimbi Rema Namakula gwe yalekawo ayanjudde omusajja omulala ne bamusoomooza...

Daddy Andre eyayanjuddwa Nina Rose. Ku ddyo ye muyimbi Katatumba

Angella Katatumba ali mu ki...

OMUYIMBI Angella Katatumba ali mu kiyongobero olwa muyimbi munne Nina Rose okutwala muninkini we, Daddy Andre n’amwanjula...

Abaserikale nga bakunya omusajja eyabadde n'emmundu.

Bamukutte n'emmundu mu luki...

POLIISI ekutte omusajja eyabadde n’abawagizi ba Joe Biden n’emmundu ejjudde amasasi okumpi n’olukuggaana lwa Pulezidenti...

Dokita ng'agema omwana polio.

Polio taggwangayo - Dokita

GAVUMENTI erabudde Bannayuganda ku bulwadde bwa polio ne balagirwa obutabugayaalirira bayongere okutwala abaana...

Ababbi kkamera be yakutte nga banyaga edduuka e Bunnamwaya.

Kkamera zikutte ababbi nga ...

ABABBI balumbye edduuka ly’ebizimbisibwa e Bunnamwaya ne banyaga ebintu nga tebamanyi nti kkamera ezaabadde munda...