TOP

Kkooti gwe yayimbudde bamusse ne bamwokya

Added 14th April 2019

ABATUUZE baavudde mu mbeera ne bakuba omutuuze kkooti gwe yayimbudde ku gw’obubbi ne bamutta oluvannyuma omulambo ne bagukumako omuliro poliisi esanze ateta.

 Poliisi n’abatuuze mu kifo we baayokedde Kyaterekera.

Poliisi n’abatuuze mu kifo we baayokedde Kyaterekera.

Bino byabadde ku kyalo ky'e Kaligwa mu muluka gw'e Mpambire mu Mpigi Town Council, abatuuze bwe baalumbye mutuuze munnaabwe mu maka ge ne bamukuba emiggo n'okumutema ebijambiya ne bamutta lwa poliisi kumuyimbula nga bamulumiriza okubabba emmere.

Innocent Elia Kyaterekera 27, ye yattiddwa, abatuuze bwe baamukwata n'ettooke eribbe ne bamutwala ku poliisi y'e Mpigi wiiki ewedde n'emutwala mu kkooti eyamuyimbudde.

Baamusanze mu makaage nga yaakatuuka ne batandika okumukuba nga bwe bamulumiriza obubbi.

Ekibinja ky'abatuuze ekibadde kikutte emiggo n'ebijambiya okusalako amaka ga Kyaterekera kiddiridde okufuna amawulire nti ayimbuddwa oluvannyuma lw'okumukwata nga bamulumiriza okubabba ebintu okuli amatooke, eppipa n'ebirala era tebamulinze kwewozaako batandikiddewo okumukuba emiggo nga baasoose kumusiba miguwa emikono n'amagulu ne bamukuba n'okumutema nga tasobola kwerwanako.

Bakira abatuuze bakuba Kyaterekera emiggo ku mutwe n'amayinja nga bwe balangira poliisi okubasibako ababbi ku kitundu ng'ebayimbula ng'ate balina obujulizi kuba ono baamukwata lubona.

Akulira okunoonyereza ku buzzi bw'emisango mu Mpigi, Andrew Ainembabazi yategeezezza nti Kyaterekera yamututte mu kkooti n'ayimbulwa ng'obujulizi tebumala era n'avumirira eky'abatuuze okutwalira amateeka mu ngalo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...