TOP

Sipiika Kadaga akomyeewo kasirise mu ggwanga

Added 16th April 2019

Sipiika Kadaga akomyeewo kasirise mu ggwanga

 Rebecca Kadaga

Rebecca Kadaga

SIPIIKA wa Palamenti Rebecca Kadaga akomyewo kasirise mu ggwanga ng'ava mu ddwaaliro lya Aga Khan e Nairobi gye yatwalibwa ng'alumizibwa. Sam Obbo munnamawulire wa Sipiika yakakasizza nga Kadaga bwe yakomyewo kyokka n'agaana okulambulula ebisingawo.

Yasuubizza nga bw'ajja okufulumya ekiwandiiko ku nsonga eno gye bujja. Kyokka ensonda mu famire zaategeezezza nti yakomyewo ku Lwomukaaga ku ssaawa 10:00 ez'olweggulo ng'ennyonyi yamutuusirizza ku kisaawe e kikadde e Ntebe. "Kituufu twamukimye wadde yabadde alabika nga munafu, kyokka yabadde ali mu mbeera nnungi.

Tumusuubira ekiseera kyonna okuddamu okukakkalabya egy'eggwanga bw'anaaba amaze okuwummulamu," owa famire ataayagadde kumwatuukiriza mannya bwe yagambye.

Mu kuva ku nnyonyi yasobodde okutambula obulungi, wadde nga bwe yabadde alinnya emmotoka eyamwongeddeyo bamukutteko. Enteekateeka eyakoleddwa nga ya kyama kyategeezeddwa nti Kadaga ye yagyagadde nga tayagala kusasamaza bantu kumanya nti yabadde akomyewo.

Teyatambulidde mu mmotoka ye entongole ey'obwasipiika. Wiiki ewedde Kadaga yaweereza obubaka eri ababaka ba Palamenti n'eggwanga ng'abagumya nga bwe yali yeewulira obulungi era ng'asuubira okukomawo mu ggwanga ekiseera kyonna.

Obulwadde obubadde butawaanya Kadaga okusinziira ku kiwandiiko ekyafulumizibwa Obbo kyava ku bukoowu olw'olugendo lwe yaliko mu Amerika n'amawanga amalala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo

Abatudde okuva ku kkono; Godfrey Nyola, Saul Kizito, Isaac Ngobya ne Pasita Paul Musisi ate abayimiridde okuva ku kkono; Kennedy Lubogo, Edward Baguma, Jimmy Ssekandi

Aba 'Former Footballers In...

Abaaguzannyako abaabaddewo kuliko; Saul Kizito (Nile FC), Isaac Ngobya (Bell), aba Express okuli Kennedy Lubogo,...

Kamaanyi eyatolosa Ssekabak...

Dan Kamaanyi, eyatolosa ssekabaka Muteesa II ekibabu kya Milton Obote eyalumba olubiri mu 1966 ng'ayagala okumutta,...

Muyigire ku bajulizi abakki...

MUK'OMULABIRIZI wa West Buganda Can.Elizabeth Julia Tamale y'ayigirizza mu kusaba okw'okujjukira abajulizi ba...