TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Minisita Ssempijja ne mukyala we baleppuka na gwa ttaka

Minisita Ssempijja ne mukyala we baleppuka na gwa ttaka

Added 16th April 2019

Minisita Ssempijja ne mukyala we baleppuka na gwa ttaka

 Abaserikale nga bafuluma ekikomera omuli ettaka erikaayanirwa minisita Ssempijja (mu katono) ne Ssajjabi.

Abaserikale nga bafuluma ekikomera omuli ettaka erikaayanirwa minisita Ssempijja (mu katono) ne Ssajjabi.

MINISITA w'ebyobulimi, obulunzi n'obuvubi, Vincent Bamulangaki Ssempijja kkooti y'ebyettaka emuyisizzaako ekibaluwa ekimuyimiriza okukolera ekintu kyonna ku ttaka ly'e Mutundwe lye bakaayanira ne Benard Ssajjabi.

Ekiragiro kino kyayisiddwa omuwandiisi wa Kkooti y'ebyettaka, Samuel Emokor nga kiragira Ssempijja ne bane okuli Jane Mbabazi ne Matia Ssewasswa obutabaako kye bakolera ku ttaka lino okuli okuzimba oba okulitunda okutuusa ng'omusango ogwabawawaabirwa Ssajjabi guwedde okuwulirizibwa.

Bernard Ssajjabi omutuuze w'e Kabojja mu Kampala yatutte minisita Ssempijja, mukazi we Jane Mbabazi, Matia Ssewaswa ne Joseph Balidukawo mu kkooti Enkulu evunaanyizibwa ku by'ettaka ng'agisaba eyimirize emirimu egikolebwa ku ttaka lino erisangibwa e Mutundwe Kibuga Zooni II ku Block 32 Plot 572 eriwezaako obugazi bwa decimolo 14.

Ssajjabi agamba nti okuddukira mu kkooti kyaddirira minisita Ssempijja ne mukyala we, okutandika okuzimba ekizimbe kya kalina ku ttaaka lye n'okusaawa emiti gye n'olusuku oluvannyuma lw'okuferebwa Matia Ssewaswa ne Joseph Balikuddembe abaamufera ne bamuguza ekitundu ku ttaka lye.

Ku Lwokutaano Ssajjabi ng'akulembeddwamu atwala poliisi y'e Mutundwe, Shaban Mugenyi ng'ali wamu n'omutabaganya wa poliisi n'omuntu waabulijjo okuva e Katwe, Robert Maganda n'abaakakiiko k'ekyalo, baagenze ku ttaka lino okukwasa Mbabazi ekiwandiiko kya kkooti ekiyimiriza emirimu gyonna egikolebwaako.

Bano baasanze akaseera akazibu olw'okusanga bakanyama nga bayiiriddwa mu kifo kino. Wabula oluvannyuma lw'okwogerezeganya n'abaserikale, baabakkirizza okuyingira munda era akulira abazimbi n'assa omukono ku kiragiro kya kkooti okukkiriza nti akifunye.

Oluvannyuma abazimbi abaabadde bakola baasabye poliisi okubawaayo akadde okumalawo omusenyu gwe baabadde batabudde nga bwe balinda mukama waabwe okubasasula ensimbi zaabwe baamuke ekifo.

SSAJJABI ANNYONYODDE ENGERI GYE YAFUNAMU ETTAKA

Yagambye nti ettaka lino yaligula mu 2015 ku bukadde 43, okuva ku Matia Ssewaswa ne Joseph Balidukawo mu 2016 n'akola ku kyapa kyokka yeewunya minisita eyagula mu 2018, okuva ku Farouk Ssekyondwa eyasooka okugula ku Ssewaswa gy'akalambira nti ettaka lirye n'atuuka n'okuzimbako.

Joseph Mubanda ssentebe w'ekyalo yagambye nti ensonga zino azimanyiiko era n'ekiragiro kya kkooti yakifunyeeko kyokka engeri gye ziri mu kkooti talina ky'ayinza kuzogerako. Jane Mbabazi bwe yatuukiriddwa ku ssimu yategeezezza nti ensonga ziri mu kkooti era talina kya maanyi ky'agenda kuzogerako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'e Korea batandise kampey...

AB’E Korea bali mu kugaba musaayi okumala ennaku ttaano okutaasa bannaabwe abakwatibwa ekirwadde kya Corona.

Omubaka Amelia Kyambadde nga yeegasse ku batuuze okukola bulungibwansi

Abakulembeze mwongere amaan...

EKIBIINA ky'obwannakyewa kikulembeddemu abatuuze b'e Mpambire ne bakola bulungibwansi omubaka Amelia Kyambadde...

Omugenzi Maj. Gen. Eric Mukasa

Kabaka atenderezza munnamag...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II akungubagidde omugenzi Maj.Gen. Eric Mukasa gwayogeddeko ng’omu ku bavubuka abazira...

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...