TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Baabano ababaka 12 abagaana okugikwatako kati beegasse ku Bobi Wine

Baabano ababaka 12 abagaana okugikwatako kati beegasse ku Bobi Wine

Added 16th April 2019

Baabano ababaka 12 abagaana okugikwatako kati beegasse ku Bobi Wine

 Bobi Wine owa People Power

Bobi Wine owa People Power

OMUBAKA Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) ayongedde okufuna enkizo ku Besigye kw'ani ku bombi asinza emikisa okukulembera oludda oluvuganya mu kalulu ka 2021.

Amututteko ababaka ba NRM ‘bakyewaggula' abaagaana okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti. Ababaka ba NRM 27 be baagaana okuggya ekkomo ku myaka gya pulezidenti nga December 20, 2017 wadde ng'ekibiina mwe bava kyali kisazeewo okuggyawo ekkomo. Bangi ku babaka bano tebaddamu kuyitibwa mu nkiiko za kibiina ekyawaliriza abamu okutandika okweyisiza ddala ng'abooludda oluvuganya.

Enkambi ya Dr. Kizza Besigye awagirwa FDC n'ekisinde kya People Power ekya Bobi Wine baatandika kaweefube w'okuperereza ababaka bano basobole okubeegattako. Kyokka n'ekibiina kya NRM oluvannyuma kyekuba mu kifuba ne kiddamu okuyita abamu ku babaka bano era abamu baabaddeyo mu lusirika lwe Kyankwanzi olwasembyeyo.

Oluvannyuma lwa NRM okumatiza abamu okudda awaka, ettunduttundu ku baasigaddewo baasazeewo okwegatta ku Bobi Wine eyafunye ababaka 12 ekyalese aba FDC nga beewuunaganya kuba nabo babadde babalinamu essuubi.

ABABAKA 27 ABA NRM ABABADDE BAKAAYANIRWA

James Acidiri (Maracha East), Monicah Amoding (Kumi munisipaali), Norah Bigirwa (mukazi/ Buliisa) Johnson Muyanja Senyonga (Mukono South), Everlyn Chemutai (mukazi/Bukwo), Hellen Kahunde (mukazi/Kiryandongo).

Gaffa Mbwatekamwa (Kasambya), Henry Kibalya (Bugabula South) James Kaberuka (Buyaga West), Alex Ruhunda (Fort Portal Munisipaali), Connie Galiwango Nakayenze (mukazi/Mbale), Robert Migadde (Buvuma). Susan Ameru (mukazi/Amuria), Oketayot Lowila (mukazi/ Pader), Patrick Nsamba (Kassanda North), Anthony Ssemmuli (Mubende Munisipaali), Theodore Ssekikubo (Lwemiyaga), Sarah Temulanda Nakawunde (mukazi/Mpigi) Dennis Sabiiti (Rubanda West), Evelyn Chemutai (mukazi/ Bukwo), Richard Gafabusa (Bwamba), Justine Khainza (mukazi/Bududa), Sam Lyomoki (bakozi), Norah Bigirwa (mukazi/ Buliisa) , Sylivia Rwabwogo (mukazi/ Kabarole), John Baptist Nambeshe (Manjiya), Bernabas Tinkasiimire (Buyaga West) ne Sylivia Akello (mukazi/Otuke).

Wadde ng'omuwendo guno gwandibadde gusukkawo, ababaka abawagira Bobi Wine baategeezezza nti balina bannaabwe be batakyesiga abaasalawo okugenda mu lusirika lwa NRM e Kyankwanzi. Be baasazeewo obutaddamu kutambula nabo kuliko; Muyanja Senyonga, Temulanda Sarah, Anthony Semmuli, Robert Migadde ne Connie Nakayenze.

BOOGEDDE LWAKI BEEGASSE KU PEOPLE POWER

"Nasazeewo okuwagira Bobi Wine si lwa nsonga ndala yonna, naye lwakuba y'aliko amafuta mu kiseera kino era y'asobola okututuusa ku buwanguzi obwalema Besigye,"Mbwatekamwa bw'agamba.

Yagasseeko nti amaanyi Bobi g'alina mu bavubuka okwetooloola eggwanga tebayinza kukkiriza kugafi irwa. Acidiri yategeezezza nti oyo yenna ayagala okutegeera nti Bobi Wine takoma Kampala agendeko mu West Nile kuba abaayo baamulaalika dda nti alina okumutambulirako kuba bamwetaaga nnyo.

Patrick Nsamba yagambye nti mu kiseera kino ng'abavubuka bakola ebitundu 80 ku buli 100, kibeera kikyamu okuleka omuntu gwe bakkiririzaamu. Ekirungi ky'alabye ku Bobi kwe kubeera ng'asobodde okugatta abantu bonna mu byalo ne mu bibuga. Sulaiman Kidandala omukwanaganya w'emirimu gya People Power yagambye nti buli olukya beeyongera maanyi olw'abantu ababeegattako.

Ng'oggyeeko aba NRM bakyewaggula, waliwo n'abatalina bibiina nga David Lukyamuzi Kalwanga (Busujju) eyalangiridde nga bw'agenda okuwagira Bobi Wine mu kulonda kwa bonna.

BOBI ALAZE OBUKODYO OBUNAAMUWANGUZA Bobi Wine agamba nti wadde waliwo abalina endowooza y'okweyambisa okwekalakaasa okusuula Gavumenti nga bwe gwabadde e Sudan ne Algeria naye alina okukkiriza nti basobola okukyusa obuyinza nga bayita mu kalulu.

Eno y'ensonga lwaki akunga abantu beewandiise basobole okulonda mu bungi. Ayawukana ne bannabyabufuzi abagamba nti tebasobola kuwangula na kalulu ate olumala nga beewandiisa nga bamaze okumalamu abalonzi amaanyi. "Gavumenti ne bw'eba eggyiddwaako na kifuba nga bwe gwabadde e Sudan era kiba kyetaagisa okukuba akalulu okulonda abakulembeze abaddako bannamagye baleme kuddamu ‘kubuukira kigaali', noolwekyo endagamuntu yeetaagisa,'' Bobi Wine bwe yagambye.

Yakkirizza nti akimanyi nti Gavumenti esobola okulemesa abagivuganya kyokka obuwanguzi obutuukiddwaako e Kyaddondo East, Jinja East, Bugiri, Rukungiri ne Arua Munisipaali bumukakasa nti basobola n'okuwangula entebe y'eggwanga.

"Buli Munnayuganda akitwale nga kimukakatako okukuuma Konsitityusoni y'eggwanga nga ssinga balaba ekikolwa kyonna ekigityoboola balina okusitukiramu n'amaanyi," Yawadde ekyokulabirako kya 2016, abalonzi obukadde nga butaano tebaalonda kyokka nga beewandiisa. Waliwo n'abalala abatamanyiddwa ababa tebeewandiisizza ng'entabwe evudde ku bye bawulira nti akalulu tekasobola kukyusa bukulembeze.

ABO TWABAVAAKO DDA - NRM Solomon Silwany (Bukooli Central) amyuka ssentebe w'akabondo k'ababaka ba NRM yagambye nti abagamba nti bagenda kuwagira Bobi Wine bulijjo amanyi nti baagenda dda kuba era babadde bambala bimyufu, tebava mu nkiiko n'abooludda oluvuganya era nabo tebakyatawaana kubayita.

Yabaagalizza emirembe gye baalaze n'abakakasa nti nayo bajja kubawangulirayo nga bwe baabamegga ku ky'okuggya ekkomo ku myaka. Okugenda kwabwe yagambye nti tekujja kukosa NRM kuba amaanyi gagyeyongera buli olukya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

UNEB ewadde abayizi wiiki 5...

MINISITULE y’ebyenjigiriza ewadde abazadde n’abayizi omwezi gumu okusasula ssente z’ebigezo n’okwewandiisa okukola...

Trump ne Biden

Omugagga asasulidde abasibe...

OMUSAJJA bifeekeera, omu ku basinga obugagga mu Amerika akutte doola obukadde 16 n’asasulira abasibe 32,000 engassi...

Abawagizi ba Rukutana nga bajaganya

Engeri ebya Rukutana gye bi...

EBY’OBULULU bw’e Rushenyi bikyuse minisita Mwesigwa Rukutana bw’alangiddwa ng’eyawangudde akalulu k’essaza lino...

Omuyimbi Pia Pounds yeekokk...

Sheilah Gashumba kirabika kati ye yeekwatiramu mu kukuba ebifaananyi

Malokwezza ne mukazi nga bajaganya

Tofiri Malokweza (92): Ayog...

Bw’OLABA omuntu ow’emyaka 92 tolemwa kutendereza Katonda ate ng’eno bwe weebuuza ekyama kye ekimusobozesezza okuwangaala....