TOP

Ebitwaliriza abasajja ne badda awaka nga buyise

Added 16th April 2019

Ebitwaliriza abasajja ne badda awaka nga buyise

 Abadigize nga bali mu bbaala. Abasajja bangi abatwaliriza obudde nga bali mu bbaala olwo awaka ne baddayo ng’obudde bugenze.

Abadigize nga bali mu bbaala. Abasajja bangi abatwaliriza obudde nga bali mu bbaala olwo awaka ne baddayo ng’obudde bugenze.

BW'OYITAKO mu bbaala ne mu bufunda gye baliira n'okunywera naddala omwenge, mu budde bw'akawungeezi tolema kusanga basajja abakisimbye ne kiroka. Oluusi babeera ne bamaama abababeesabeesa, naye ate waliwo ababeera bokka nga banyumirwa obulamu. Mu bbaala emu e Kololo gye nasanze omusajja atemera mu myaka 40 ng'atudde ku kkawunta, yeewaamu.

Nayingidde ku ssaawa 2:00 ez'ekiro era namusanze yateredde dda bubya. Bakira anywa nga bw'alaba omupiira gwa Arsenal ne Napoli, ogwawanguddwa Arsenal ku ggoolo bbiri. Musajjamukulu ono bwe natunudde ku mukono gwe ogwa kkono nga ndaba kuliko empeta, ekyayongedde okunkakasa nti musajja mufumbo.

Omupiira olwawedde, ne ndowooza nti osanga anaasimbula okudda eka. Wabula we naviiriddewo ku ssaawa 6:30 ng'atumizza omwenge omulala. Ono si ye yekka. Abasajja bangi abafumbo abatwaliriza obudde nga bali mu bifo ebisanyukirwamu olwo awaka ne baddayo nga buyise. Oyinza okulowooza nti kino bakikola ku wiikendi kwokka naye si bwe kiri. Abasajja abamu baakissaawo nti bwe zitawera ssaawa 5:00 oba 6:00 mu ttumbi, takwata lidda wuwe.

KIKI EKIREETAWO EMBEERA ENO

Edith Mukisa omukugu mu Kubudaabuda abafumbo agamba nti omusajja okutuuka awaka ekikeerezi kisobola okuva ku nsonga ez'enjawulo omuli ez'obunafu bw'omusajja nga ye, wamu n'ezo ezireetebwawo abo b'abeera nabo naddala omukyala. Ezimu ku nsonga ezireetawo embeera y'omusajja okudda ekikeereze mulimu; 1 Abasajja bangi tebamanyi kukuuma budde.

Omusajja yenna bw'aba tamanyi kukola bintu by'ateekeddwa okutuukiriza mu lunaku mu budde obutuufu tayinza kudda waka mu budde era weekanga nti ku mulimu yannyuse ku saawa 1:00 kyokka n'atuuka awaka ku ssaawa 4:00 nga si lwakuba nti abadde alina ekyamaanyi ky'abadde akola wabula lwakuba nga tamanyi kukozesa budde bwe. 2 Emirimu. Omulimu omusajja gw'akola nagwo gusalawo nnyo budde ki bw'alina okutuukirako awaka. Okugeza, singa omusajja ku mulimu abeera bakama be bamuta kikeerezi kijja kumubeerera kizibu okudda awaka ng'obudde bukyali.

Kino kinyiga abakyala naddala ssinga omusajja aba teyategeeza munne kika kya mulimu gw'akola. 3 Enkolagana embi wakati w'abafumbo. Amaka agataliimu nkolagana na mirembe tegasikiriza musajja kudda waka kubanga buli musajja yeetaaga okudda awaka emirembe okusobola okuwummuza birowoozo.

Ssinga abeera nga gy'adda asuubira kutuukira mu mbirigo ne maama w'abaana, tayinza kukeera kudda waka nga n'oluusi abali mu mbeera eno bamanyi n'okusula mu loogi.

4 Abakyala abatamanyi kwaniriza baami baabwe nga bakomyewo nabo oluusi baleetera abasajja okusikattira mu kkubo. Omuntu yenna singa obeera gy'olaga bakwaniriza toyinza butayagalayo naye abakyala ennaku zino abamu tebakyalina budde bwaniriza baami baabwe. Lw'aba akikoze asooka kutunuulira by'aba aleese mu kaveera. Kino omusajja akiraba ng'okumu- yisaamu amaaso.

Era omusajja bw'amanya nti embeera gy'alimu temusobozesa kudda nga yeetisse basobole okumukuliisayo asalawo kudda kikeerezi kubanga ne bw'anaakeera ajja kutunuulirwa kyamuli.

5 Awaka bwe watabaawo mpuliziganya wakati w'abafumbo, omusajja afuba okwewalawo. Abagalana bangi babeerawo nga bali mu lusirika. Okugeza amaka agamu abafumbo beesanga nti okwogera kwabwe bakoma ku kwebuuzaako, abalala boogera lwakuba waliwo ababalaba essaawa eyo ate abamu nga teboogererako ddala.

Omusajja bw'amanya nti eyo y'embeera eri awaka, kizibu okudda nga bukyali, era abeera azza tulo.

6 Abakazi ab'emimwa bafuukira abasajja ekizibu ekibagaana okudda awaka amangu. Abakazi abamu bayitiriza okuyombesa abasajja ate ng'emirundi egisinga babayombeseza mu maaso g'abaana n'abakozi. Kino kireetera abasajja okukyawa okudda awaka olw'okwewala okuswazibwa, olwo ne bakomawo nga bugenze, okwewala embeera eyo.

7 Obwenzi. Kino kye kimu ku nsonga enkulu eremesa abasajja okudda amangu awaka. Omusajja ayinza okunnyuka mu budde naye olw'okuba alinayo omukyala omulala gw'alina ku pulogulaamu n'asooka ayitirayo okukkakkana ng'obudde bw'okudda awaka bumuyiseeko ayingidde matumbibudde ng'abewuwe beebase dda. 8 Abaana.

Abasajja abamu tebaagala baana kubakaabirira, bw'abalaabalamu okudda awaka nga bukyali ajja kusanga ng'abaana tebanneebaka ate badde mu kumukaabirira asalawo okugira nga yeebeerera mu bbaala oba ekifo kyonna ekimuwummuza. Ate abakyala abamu balina n'omuze gw'okulezesa abasajja abaana mu ngeri ya ‘naawe situlamu'.

9 Emikwano. Emirundi mingi omuntu by'akola bikwatagana n'emikwano gy'alina. Ssinga omusajja afuna emikwano nga baamanyiira okudda awaka ekikeerezi naye tayinza kusukka kye bakola. Abamu ayinza okutandiikiriza nga banne abaleka n'adda awaka mu budde, wabula bwe batandika okumujerega ng'omukazi bw'amufuga ennyo yeesanga naye atandise okulwa ebweru nabo, olwo ng'akimanyiira.

10 Obucaafu awaka. Abasajja abamu tebakolagana na bucaafu nga singa omukyala alemwa okuyonja awaka atuuka okwekanasaawo nga takyayagala kubeerawo bbanga ddene. Okugeza ssinga omusajja abeera nga buli lw'adda awaka buli kimu ky'akubako eriiso kiddugala ate nga tebimunyumira ayinza okusalawo okuddanga ekikeerezi ng'omukyala amalirizza okwetereeza. 11 Emipiira.

Abasajja abamu banyumirwa emipiira ne weesanga obudde ng'obw'ekiro bwe bandiwadde famire zaabwe bubula ne babuzza mu kuleekaanira mu bibanda ne batuuka n'okudda awaka amatumbibudde nga bava mu mipiira. 12 Obuvunaanyizibwa okusukka awaka. Embeera y'ebyenfuna mu basajja ennaku zino si nnyangu, bafuna kitono kyokka ng'obuvunaanyizibwa bwe balina okutuukiriza bungi ne weesanga nti basalawo okudda awaka nga buyise okwewala okusabibwa ebintu ebimu. Ate abalina abakyala abakola aba asuubira nti ebimu abaana bajja kuba baabisabye dda maama waabwe.

OBULABE BW'OMUSAJJA OKUDDA AWAKA EKIKEEREZI

Moses Kasumba ow'e Kasubi yaakamala emyaka 10 mu bufumbo agamba nti ebirungi bingi ebituukibwako ssinga omusajja awa amaka ge obudde kyokka bw'alemwa okukikola n'asalawo okuddanga amatumbi budde ate n'afuluma ku matulutulu amaka abeera agatadde ku ccupa era kireetawo ebintu eby'enjawulo nga bino wammanga.  Kimalawo obwesigwa wakati w'abafumbo.

Emirundi egisinga buli omusajja bw'adda awaka ekikeerezi kiwa mukyalawe endowooza enkyamu nti yandiba ng'abadde mu bikolwa bikyamu ng'obwenzi. Kino kimalawo obwesigwa wadde ng'olumu omusajja ayinza n'okuba nga teyabadde mu bwenzi.  Kivaako omusajja obutamanya mpisa za baana be.

Omusajja yenna kimukakatako okubeera ng'amanyi abaana be embeera zaabwe. Kino asobola okukituukako ng'abeerako nabo, wabula bw'aba nga buli lunaku akomawo nga beebase era n'abaleka nga beebase, kizibu okubamanya.

Kiziηηamya enkulaakulana mu maka. Ssinga abafumbo tebabeera na budde bwe bawaayo ne batuulako ng'abaagalana, okwogera ku nsonga ezibazimba enkulaakulana mu maka gammwe kiba kizubu okubaawo.

Mulemwa okukuza abaana mu ngeri entuufu kubanga okugunjula abaana buvunaanyizibwa bw'abafumbo bombi. Ssinga ensonga zino zirekebwa mukyala yekka, ayinza okulemwa okubutuukiriza obulungi, okukkakkana ng'abaana bakuze muwawa.

Kiyinza okuleetawo obwenzi mu maka. Buli omusajja bw'alwawo okudda awaka omukyala aba alowooza oli mu bwenzi era kino kiviirako abakyala abamu okusalawo nabo okwesasuza okukkakkana ng'obwenzi bwetisse awaka.

OMUSAJJA ALINA EBIKULEMESA OKUDDA AWAKA MU BUDDE OYINZA KUKOLA OTYA

Edith Mukisa agamba nti tewali mbeera etasoboka kugonjoolwa wakati w'abaagalana, okuggyako nga tebafuddeeyo kufaayo kugimalawo. Era agamu ku makubo agayinza okuyitwamu okugonjoola ebizibu ebivaako omusajja okudda ekikeerrezi gye gino: Omwami okwogera ekitakusanyusa awaka, munno akyuseemu.

Ssinga omwami weesanga ng'olina ekintu munno ky'akola ekitakusanyusa oba ekikutamya awaka, okugeza obucaafu, okuyombayomba n'ebirala, bw'odda awaka ekikeerezi tekisobola kumalawo kizibu ekyo.

Okuyiga okusaba abakukozesa obudde bw'awaka. Omusajja ssinga obeera ng'omulimu gw'okola bakuta kikeerezi osobola okusabangayo obudde n'oddako awaka nga bukyali n'obeerako ne famire yo.

Emikwano egikusendasenda okudda awaka ekikeerezi osobola okugyesalako, okwewala okugwa mu butego bwabwe, kuba bw'ofuna ebizibu be bakusekerera.

Teeka awaka embeera ekusobozesa okuwummula nga wakusanyusa. Abamu ekibalemesa okubeera awaka lwakuba tebaategekawo mu ngeri esikiriza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...

Bannayuganda muve mu tulo -...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okuva mu ttulo bataandike okusala amagezi g’okunoonya obuggagga n’asaba...

Gavana Mutebile

COVID19 ayigirizza Bannayug...

GAVANA wa bbanka enkulu Tumusiime Mutebile agambye nti Bannayuganda bagenda kukendeeza ku kumala gasasaanya nsimbi...

Nunda yeesize Katonda ku ky...

JACKSON Nunda olukutudde ddiiru ne URA FC n’asuubiza okuddamu okwaka nga bwe yali nga tannafuna buvune mu KCCA...

Golola

Golola alidde ogwa Tooro Un...

OMUTENDESI Edward Golola olumuwadde omulimu gwa Tooro United FC n’akomyawo banne bwe baawangula ekikopo ky’Essaza...