TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bawala, abawadde obujjanjabi nze Fifi kuba sinyumirwa mbeera mbi

Bawala, abawadde obujjanjabi nze Fifi kuba sinyumirwa mbeera mbi

Added 16th April 2019

Bawala, abawadde obujjanjabi nze Fifi kuba sinyumirwa mbeera mbi

FIFI Da Queen owa Bukedde TV (ku ddyo) tayagala bantu kulwala na kubeera mu mbeera mbi. Yakoze kampu y'ebyobulamu nga muno mwabaddemu okujjanjaba abantu, okubakebera siriimu, kookolo w'amabeere mu bakyala wamu n'owa nnaabaana n'okubawa eddagala.

Yabadde Wobulenzi ku kisaawe gye yayitidde ab'omu kitundu ekyo okujja bakeberebwe ate babeere nga baweebwa obujjanjabi ku bwereere ng'ayita mu kitongole kye kye yatuumye Queens Heart Development Organization ng'ayambibwako abasawo okuva mu ddwaaliro ly'e Naggulu.

Kuno yagasseeko n'okuyita abaagala okugenda mu mawanga g'ebweru okukola beewandiise bayambibweko okufuna emirimu n'okubatwala nga kino agenda kukikola ng'ayita mu kkampuni emanyiddwa nga Bright Star Creations International Uganda Limited.

Ab'e Wobulenzi baawuliddwa batendereza Fifi nti yadde baabadde mu kukeberebwa ndwadde n'okujjanjabwa yabadde abateereddewo baanabawala ne baana balenzi abaabadde babazinira amazina okubaggyaako obweraliikirivu bw'ebinaava mu kukeberebwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu