TOP

Ebikolobero bya Bashir

Added 16th April 2019

Ekimu ku bikulu akakiiko ka bannamagye bye kaagala Bashir annyonnyole, by’ebikolobero by’akoze mu myaka 30 gy’amaze ku bukulembeze.

Bashir gwe baamaamudde ku bwapulezidenti bw'eggwanga lya Sudan

Bashir gwe baamaamudde ku bwapulezidenti bw'eggwanga lya Sudan

Ekimu ku bikulu akakiiko ka bannamagye bye kaagala Bashir annyonnyole, by'ebikolobero by'akoze mu myaka 30 gy'amaze ku bukulembeze.

1 We yajjira mu buyinza nga waliwo olutalo wakati w'Abasudani abaddugavu abava mu bukiikaddyo (South Sudan) n'abava mu bukiikakkono mu lutalo lwa Second Sudanese Civil War olwatandika mu 1983 ne luggwa mu 2005. Olutalo lwamala emyaka 22. Lwafiiramu abantu abagambibwa okuwera obukadde bubiri okuli abattibwa amasasi n'ebijambiya, abaakubwa amayinja n'abaafa enjala n'endwadde ezaaleetebwa olutalo.

2 Mu lutalo luno Gavumenti yali egoberera nkola y'Abawarabu ng'egezaako okutwala mu Southern Sudan enfuga etambulira ku musingi gw'Ekisiraamu (Shaliya) ng'ate mu Southern Sudan esingayo batali Basiraamu. Gavumenti ya Bashir yassa omukono ku ndagaano y'okukomya olutalo mu 2005, era oluvannyuma ekyaddirira kwe kutondawo eggwanga lya South Sudan mu 2011.

3 Embeera yalinga etereera ate olutalo lw'e Darfur ne lubalukawo ng'okusinga lwali lw'amawanga agenjawulo nga balwanira ettaka. Olutalo lwe Darfur, Bashir yalulinamu omukono gw'amaanyi bwe yasalawo okuteekawo akabinja ka Janjaweed akaatugumbulanga abantu. Lipooti eyafulumizibwa ekitongole ky'amawanga amagatte mu 2008, yalaga nti abantu emitwalo 30 be baafiira mu busambattuko buno.

4 Kigambibwa nti Bashir yalagira okutta abantu n'ekigendererwa ky'okumalawo abantu b'amawanga okuli Fur, Zaghawa ne Masalit. Ekittabantu eky'e Darfur kyatuusa Kkooti y'ensi yonna okulagira okukwata Bashir awozesebwe. Era ye mukulembeze w'ensi eyaasooka okulagibwa akwatibwe ng'akyali mu ntebe. Kyokka Bashir yaziimuula ebiragiro n'agenda e Misiri, Saudi Arabia ne South Afrika.

OBUBINJA BW'ABATEMU

Bashir abadde n'obubinja bw'abavubuka abakubi ba kibooko nga bwenyigira ne mu butemu, b'abadde akozesa okutulugunya abantu n'okulwanyisa abagezaako okwekalakaasa. Beesiba obukookolo ku mitwe nga ne bwe babeera bakukubye tolina gw'oyinza kusongamu nti gundi y'akukubye.

Ng'oggyeeko okukuba, abasajja bano babadde bakwata abantu ne babasibira mu bifo ebitamanyiddwa era waliwo n'abantu abaakwatibwa kyokka nga tebaddangamu kulabikako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Loodi Meeya Lukwago

Loodi Meeya yafunye 'alaje'...

Loodi Meeya yafunye ‘alaje' enkambwe. Okusinziira ku basawo ‘alaje' y'embeera y'omubiri okwecanga ssinga gussibwaamu...

Abapoliisi nga balawuna mu Kampala.

Okunoonyereza kulaze ebibul...

OKUYITA mu kunoonyereza kwa Vision Group etwala ne Bukedde, Bannayuganda balaze ebyokwerinda n’obutebenkevu bwe...

Nakibinge

Kasikonda amusse ayigga kalulu

KASIKONDA akutte eyeesimbyewo ng'anoonya akalulu n'aziyira. Amulumye okumala ennaku nnya ng'assiza ku byuma oluvannyuma...

Abasawo nga bassa omwana mu ‘incubator’

Bafunye ebyuma ebibikka abaana

OMUWENDO gw'abaana abafa nga tebannatuusa myezi 9 (kwe balina okuzaalibwa) mu disitulikiti y'e Kamuli, Buyende...

Katuukiro (owookubiri ku ddyo), Polof Kisambira (akutte akazindaalo) ne baminisita ba Busoga.

Kyabazinga akungubagidde Ntalo

KYABAZINGA wa Busoga William Wilberforce Nadiope IV akungubagidde Vincent Ntalo Kakete taata wa Katuukiro we, Dr....