TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omubaka Nsereko bamututte mu kkooti lwa bukadde 800 ez'ettaka ery'oluguudo lye yatunda

Omubaka Nsereko bamututte mu kkooti lwa bukadde 800 ez'ettaka ery'oluguudo lye yatunda

Added 16th April 2019

OMUBAKA Muhammed Nsereko akiikirira Kampala Central bamuwawaabidde mu kkooti lwa nsimbi obukadde 800 ez’ettaka ery’oluguudo lye yatunda.

 Omubaka Muhammad Nsereko

Omubaka Muhammad Nsereko

BYA ANNET NALUGGWA

Ettaka erizaalidde Nsereko obuzibu lisangibwa ku Bat Valley Crescent ng'agambibwa okulitunda bwe yali ssentebe w'akakiiko k'ettaka mu Kampala Central.

Omusango guno guli ku fayiro nnamba CS 282/2019 mu kkooti enkulu etawulula enkaayana z'ebyobusuubuzi mu Kampala nga guweereddwa omulamuzi Richard Wejuli Wabwire okuguwulira.

Nsereko awawaabiddwa n'akakiiko aka Kampala District Land board.

Bwindi Mgahinga Conservation Trust be baawaabye nga bayita mu bannamateeka baabwe aba Nangwala, Rezida & Co Advocates era mu mpaaba yaabwe bagamba nti nga April 4, 2014 omuwaabi ne Nsereko baakola endagaano y'okugula ettaka erisangibwa ku Freehold volume 1440 Folio 8 ku poloti 9 Bat Valley Crescent ku 800,000,000/- era zaasasulwa mu bujjuvu.

Mu bujulizi bwe bawadde kkooti bataddeko ne kkopi za ceeke kwe baasasulira ssente zino nga April 4, 2014 ne April 22, 2014 mu Stanbic Bank.

Endagaano eno ey'okutunda ettaka lino, Nsereko yakkirizza nti alina olukusa okukyusa ekyapa okukizza mu mannya g'omuwaabi era ettaka omuwaabi ne bamukolera n'ekyapa mu bukyamu nga bakimanyidde ddala nti ettaka ligenda kuzimbibwako luguudo.

Kyokka omuwaabi bwe yasaba KCCA okukulaakulanya ettaka lino ne bamugaana nga August 5, 2015 ng'ebbaluwa eno baagiwandiikira abaali balooya be aba KMNN nga bamutegeeza nti ettaka lino ligenda kuzimbibwamu oluguudo.

Bagamba nti ne Kampala District Land Board nayo evunaanyizibwa era nayo baayagala ebaliyirire olw'ebyo bye bafiiriddwa. Babalanga ne Nsereko okuba nti tebaagenda mu KCCA kuzuula oba ddala ettaka eryo lyali terigenda kukozesebwa.

Ate bwe baba baali bakimanyiiko, kitegeeza nti baafuna ssente okuva ew'omuwaabi nga bakimanyi nti ettaka lino lyali si lya kukozesebwa muwaabi. Omuwaabi agamba nti ettaka lino alisaasanyizzaako ssente endala okuli 59,911,200/=.

Kati asaba kkooti ekake abawaabi okusasula ssente ze yasasula ng'agula ettaka lino ne zaasaasanyirizza ku musango guno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...