TOP

Agatha ne Denzel era mujja kunyirira

Added 16th April 2019

Agatha ne Denzel era mujja kunyirira

BASSEREEBU Agatha Loswash (ku kkono), Calitas Kalisimbi (wakati emabega) Denzel Mwiyeresti (ku ddyo) ng'ono wa Vision Group tuzudde ebibakola ettama n'okunyirira ensusu.

Owoolugambo waffe yabaguddeko mu bbaala ya The Pearl Guide Offi ces e Kamwokya mu mpaka z'okutabula ebyokubywa bya wiikendi era bakira batabula bwe balozaako bawulire obuwoomi.

Omanyi aba kkampuni ya Uganda Breweries baabadde n'akabaga k'ebikujjuko ebyatuumidwa Pina Colada Weekend, ebigenda okutandika nga April 18 okutuuka nga 20 ng'entikko eri ku Panamera nga 19 era baggaayi bano baabayise okulozaako okuwulira obuwoomi bw'ekyokunywa kino.

Denzel yabitaddemu esswaga bwe yatabudde ng'emikono agiyisa mu mugongo. Wabula Agatha Loswash olwawangudde empaka z'okutabula yasekeredde banne n'agamba nti ye yakozesezza bumanyirivu bw'amaze ku ndigi gy'atafunangamu buzibu era yawuliddwa yeewaana nti eby'okunywa nga bino bye bimukola sikiini n'anyirira ng'ekinya

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu