
NG'EBULA ennaku mbale okutuuka ku Mazuukira ga Yesu Kristo, abazadde n'abasomesa basabiddwa okwetikka obuvunaanyizibwa, bakuze abaana nga bali mu kkubo lya Katonda.
"Ng'Abakrisitaayo abakula, mubayambe okulaba nti tebava mu kkubo lya Katonda era mbasaba abaana mubayigirize eddiini, empisa, okutya Katonda basobole okuweesa ekitiibwa." Buno bwe bumu ku bwabadde obubaka bwa Rev. George William Kyeyune, viika wa Lutikko e Namirembe eri abayizi n'abakulira essomero lya Namirembe Parents Primary School e Nankulabye bwe yabadde abasiima olw'omulimu gw'okulongoosa n'okuyooyoota Lutikko.
Ku Lwokutaano abayizi ba Namirembe Parents baasibye ku Lutikko e Namirembe nga balongoosa munda n'ebweru era Francis Sekiziyivu akulira essomero yagambye nti bakiko