
Supreme Mufti Sheikh SIliman Ndirangwa n’abamu ku bakulembeze b’Obusiraamu okuva e Kibuli n’abalala.
Supreme Mufti Sheikh Siliman Kasule Ndirangwa akunze Abasiraamu b'e Arua obutawagira mukulembeze yenna eyatunda ebintu by'Obusiraamu. Yabadde ku mukolo gw'okulayiza Sheikh Abdallah Juma Vvuni ku bwa Disitulikiti Khadi wa Arua ku Lwomukaaga mu kibuga Arua.
Ndirangwa eyabadde ne Bamaseeka ne bannakyewa bwe bali mu bukulembeze bw'Abasiraamu obw'e Kibuli yagambye nti awagira okwegatta kw'Abasiraamu nti naye tayinza kukkiririza mu kwegatta na bantu be yayise abaliko ebbala ly'okubba emmaali y'Obusiraamu. Sheikh Vvuni, yasabye Abasiraamu okumuyambako mu buli nsonga y'Obusiraamu mu disitulikiti n'abakuutira okubeera obumu.