TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bannaddiini, Gav't n'abooludda oluvuganya beesozze olusirika

Bannaddiini, Gav't n'abooludda oluvuganya beesozze olusirika

Added 16th April 2019

AKAKIIKO akagatta enzikiriza mu ggwanga aka ‘’Inter-Religious Council of Uganda (IRCU)’’, gavumenti n’aboludda oluvuganya beesozze olusirika olugendereddwamu okutema empenda z’okutambuzaamu ebikwata ku nteeseganya n’okukkaanya kwa Bannayuganda bonna ku bintu ebiruma eggwanga.

AKAKIIKO akagatta enzikiriza mu ggwanga aka ‘'Inter-Religious Council of Uganda (IRCU)'', gavumenti n'aboludda oluvuganya beesozze olusirika olugendereddwamu  okutema empenda z'okutambuzaamu ebikwata ku nteeseganya n'okukkaanya kwa Bannayuganda bonna ku bintu ebiruma eggwanga.

Olusirika lwabadde  ku Botanicle Beach Hotel e Ntebe era lwetabiddwaamu n'omumyuka wa Ssaabawolereza wa gavumenti Mwesigwa Rukutana eyakulembedde oludda lwa gavumenti.  

Ab'oludda lwa gavumenti abalala kwabaddeko ; minisita w'okusikiriza bamusiga nsimbi  Evelyn Anite, omumyuka w'omuwanika wa NRM  Dr Kenneth Omona, mmemba w'akakiiko ka CEC ya NRM , James Tweheyo  n'omuwabuzi omukulu mu ofiisi ya Katikkiro Dorothy Kisaka.

Pulezidenti wa DP Nobert Mao ye yakulembedde omukago gwa IPOD.Mao olusirika yalwetabyemu ne Ssabawandiisi wa DP Gerald Siranda, ate Betty Aol Achan n'akikirira oludda oluvuganya mu palamenti ate omubaka wa Erute South, Jonathan Odur n'akirira aba UPC.

Aba IRCU baakikiriddwa Mufuti  Sheikh Shaban Mubajje, alung'amya ebyeteseganya zino Bishop Joshua Lwere  okuva mu kibiina kya the ‘'National Alliance of Pentecostal and Evangelical Churches in Uganda''.

Rukutana yagambye nti Pulezidenti Museveni yakkirizza olukung'ana lw'okukubaganya ebirowoozo ku nsonga enkulu eziriwo mu ggwanga.Wagenda kubaawo okukung'anya ebirowoozo okuva mu Bannayuganda bonna boogere ensonga ezeetaaga okuteesebwako n'okukanyizibwa era bino bye bigenda okukulembera eby'okukyusa mu konsityusoni ya Uganda,okusinziira ku Rukutana.

Gavumenti era yakkirizza okussa ensimbi mu nteseganya n'okukaanya ku nsonga eziruma eggwanga ezeetaaga okumulungulwa.

Rukutana yakiriziganyizza ne Polof. Fredrick Ssempeebwa eyagambye nti eby'okukaanya kuno bye birina okukulembera eby'okukyusa mu Konsityusoni .Era okutongozebwa kw'okukaanya kuno kulina kubaawo butasukka june 30

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Muyigire ku bajulizi abakki...

MUK'OMULABIRIZI wa West Buganda Can.Elizabeth Julia Tamale y'ayigirizza mu kusaba okw'okujjukira abajulizi ba...

Mwesigwa eyagudde mu bazigu mu Kampala ne bamukuba ne bamubbako n'essimu

Eyakedde mu Kampala bamukub...

POLIISI mu Kampala etandise omuyiggo okuzuula abavubuka abateega n'okukuba abantu abakeera mu kibuga okuyiiya....

Dr. George Kiwanuka

E Gomba bazuddeyo omulwadde...

ABATUUZE b'e Gomba basattira oluvannyuma lw'okuzuula omusuubuzi abadde abasuubulako ebirime ng'alina ekirwadde...

 James Kasozi Muwonhe ne muzzukulu we Allan Kazibwe

Omwana atemyetemye kitaawe ...

Omwana akkidde kitaawe n'amutemaatema ng'amulanga kugaana kumuwa mugabo gwe.

Minisita Anywar atya okutam...

AMAZZI g'ennyanja Nalubaale eyabooga ne gasalako oluguudo katono galemese Minisita okutuuka ku mwalo gw'e Kamuwunga...