TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bannamagye abaawambye e Sudan baweereddwa wiiki 2 okuwaayo obuyinza

Bannamagye abaawambye e Sudan baweereddwa wiiki 2 okuwaayo obuyinza

Added 17th April 2019

Bannamagye abaawambye e Sudan baweereddwa wiiki 2 okuwaayo obuyinza

 Bannansi ba Sudan n’amagye bakyalemedde ku nguudo.

Bannansi ba Sudan n’amagye bakyalemedde ku nguudo.

OMUKAGO ogugatta amawanga ga Afrika guwadde bannamagye abaawambye obuyinza e Sudan ennaku 15 zokka okuzza obuyinza mu bantu baabulijjo oba ssi ekyo Sudan egenda kussibwako nnatti enkakali.

Lt. Gen Jalal al-Deen al-Sheikh, mmemba ku lukiiko olufuzi olw'amagye olwa Transitional Military Council yasisinkanye Katikkiro wa Ethiopia awali ekitebe ky'omukago gwa Afrika n'amutegeeza nga bwe bali mu ntegeka z'okulaba nga bawaayo obuyinza eri Gavumenti ekulemberwa abantu baabulijjo.

Amawulire ga Gavumenti aga Sudanese State News Agency (SUNA) gaawandiise nga galaga nti bannamagye baabadde beetegefu okuwaayo obuyinza mu kaweefube w'okuzza emirembe mu ggwanga awamu n'okussa ekitiibwa mu kyasaliddwawo ekibiina ky'omukago gwa Afrika.

Cansala wa Girimaani, Angela Merkel naye ayongedde akazito ku bannamagye bw'abasabye ensonga y'okuwaayo obuyinza baleme kugisaagiramu kuba kye kimu ku bantu bye basinga okwagala mu kiseera kino.

Abdel Fattah al-Burhan, akulembera Gavumenti mu kiseera kino yategeezezza nga bwe yafunye amasimu agamukubirwa okuva mu bakulembeze b'amawanga okuli; Kabaka wa Saudi Arabia, UAE, Qatar, South Sudan ne bamusiima omulimu gw'aliko ogw'okutebenkeza eggwanga.

Pulezidenti wa Misiri, Abdel Fattah al-Sisi naye yalaze obuwagizi eri Gavumenti abantu b'e Sudan gye beesiimidde kyokka n'ategeeza nti tebajja kweyingiza mu nsonga z'eggwanga eryo ez'omunda.

ABEEKALAKAASI BAAGALA EKIBIINA KYA BASHIR KIWEREBWE

Ng'oggyeeko okusaba Gavumenti ekulemberwa abantu baabulijjo, abeekalakaasi baagala ekibiina ky'abadde Pulezidenti, Omar al-Bashir, ekya National Congress Party (NCP) kisattululwe era wabeerewo n'okukakasibwa nti tekijja kwetaba mu kulonda kwonna okunaategekebwa.

Eby'obugagga bya NPC byonna baagala biboyebwe n'okuggalira abanene b'ekibiina kino kuba babadde basussizza okubatulugunya. Mu lukiiko lwa bannamawulire lwe baatuuzizza mu kibuga Khartoum baasabye wabeewo Gavumenti y'ekiseera ekulemberwa abantu baabulijjo ng'erina obuyinza obujjuvu. Kino bwe kitakolebwa tebalina Gavumenti yonna gye bajja kukolagana nayo.

Mu Gavumenti y'ekiseera bannamagye balina okuba nga balinamu ababakiikirira ate olukiiko lwa Transitional Military Council olwawambye obuyinza lusattululwe. Ssaabalamuzi w'eggwanga n'omumyuka we n'omuwaabi wa Gavumenti nabo balina okugobwa kuba baludde nga babanyigiriza nga batambulira ku ntoli za Bashir.

Obubiina bw'abakuumaddembe obubadde butulugunya abantu baagala busattululwe awamu n'okuggyawo etteeka erifuga amawulire n'enkuhhana abantu bye beekokkola nti bisussizza okubamalako eddembe lyabwe.

AMAGYE GONGEDDE OKUPONDOOKA KU BY'OKUWAAYO OBUYINZA

Omukutu gwa Al Jazeera gwategeezezza nti amagye gongedde okupondooka era ng'ensonda mu magye zaategeezezza nga bwe bagenda okuwaayo obuyinza mu kiseera ekitali ky'ewala.

Waliwo ensisinkano gye baabaddemu n'abakulembeze b'abeekalakaasi ne babagamba nti batandike okunoonya omuntu gwe balaba asaanidde okubeera Katikkiro w'eggwanga mu Gavumenti ey'ekiseera.

Mu ntegeeragana eyatuukiddwaako bannamagye baagala ebifo bibiri byokka okuli minisita w'ensonga z'omunda n'ebyokwerinda. Amagye gongedde okukwata basajja ba Bashir ababadde bamulya mu ngalo .

LWAKI BASHIR TAZAALA?

Omar Al-Bashir alina abakazi babiri okuli; Fatima Khalid ne Widad Babiker Omer gwe yawasa oluvannyuma lwa bba, munnamagye Ibrahim Shamsaddin okufiira mu kabenje k'ennyonyi. Kyokka ekyewuunyisa wadde mugagga muvundu tewali mwana we amanyiddwa ku nsi.

Kyokka buli muntu mu Sudan yeewunaganya mu kimugunyu nga beebuuza ekyatuuka ku mukulembeze waabwe. Waliwo abawanuuza nti talina maanyi ga kisajja ate abalala ne bagamba nti enkwaso ezizaala z'atalina

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr.Tamale

Fr. Tamale waakuziikibwa Bu...

Fr.  Joseph Tamale 39 afudde oluvannyuma lw'okutawaanyizibwa ekirwadde kya Puleesa n'ensigo. W'afiiridde, abadde...

Omutaka Gabunga, Mubiru  (wakati) ne Benon  Kibuuka (ku ddyo) ng'abasabira omwoyo gwa Ssaabasumba e Lubaga.

Bannaddiini musse ekitiibwa...

OMUTAKA Gabunga,Mubiru Zziikwa owookubiri, asoomoozezza Bannaddiini ku kussa ekitiibwa mu buwangwa n'Ennono. ...

Betty Maina (ku kkono) , minisita Oryem ne Amelia Kyambadde oluvannyuma lw'okussa omukono ku ndagaano.

Gavt. ya Uganda ne Kenya zi...

GAVUMENTI ya Uganda ne Kenya zitadde omukono ku ndagaano egendereddwaamu okumalawo emiziziko egibaddewo wakati...

Lukyamuzi ne Kasibante.

Lukyamuzi ne Kasibante bavu...

ABALWANIRIZI b'eddembe ly'obuntu bawakanyizza emisolo emipya gavumenti gy'ereeta mu mbalirira y'ebyensimbi ey'omwaka...

Abasiraamu nga basimba ekipande ku poloti eyassibwa ku ttaka ly'Omuzikiti  e Kiyunga mu Mukono era ekifo baakyeddiza.

Abasiraamu beddizza ettaka ...

ABASIRAAMU b'omu disitulikiti y'e Mukono abali wansi wa Mukono Muslim District Council batandise okweddiza ettaka...