TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abasomesa b'e Makerere bewozezzaako mu kakiiko ka Palamenti

Abasomesa b'e Makerere bewozezzaako mu kakiiko ka Palamenti

Added 17th April 2019

Engeri gye basse omuwala ku bbaalakisi e Nsambya

 Abamu ku baakwatiddwa ku by’okutta Gorret. Mu katono bw’abadde afaanana.

Abamu ku baakwatiddwa ku by’okutta Gorret. Mu katono bw’abadde afaanana.

POLIISI ekutte omuvubuka Wycliffe Senabulya 23, ku bigambibwa nti yeekobaanye ne banne bana ne batemula omuwala Gorret Arot 25 okumpi n'enkambi ya poliisi e Nsambya.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Polly Namaye yategeezezza Bukedde, nti abantu abalala be baakutte babayambeko mu kunoonyereza ku ttemu kuliko; Harriet Hawumba 19, nga muyizi ku yunivasite ya Cavendish, , John Julius Seremba 22, ne Watson Davis Kalyango 22.

Namaye yayongeddeko nti omugenzi abadde abeera ne nnyina e Namugongo, mu munisipaali ya Kira, mu disitulikiti y'e Wakiso, wabula baamuttidde Nsambya-Kamwanyi, bwe yabadde agenze okukyalira ku muganzi we Senabulya. "Abasibe be twakutte mu ttemu lino bonna tubakuumira ku poliisi e Kabalagala, ng'okunoonyereza bwe kugenda mu maaso," Namaye bwe yagambye.

Kigambibwa nti omugenzi abadde yazaala omwana mu Senabulya, wabula nga tebabeera wamu. Omu ku mikwano gy'omugenzi ayitibwa Vanessa Oyella, yategeezezza Bukedde nti, yalaba Aroti ku lunaku Lwokutaano, ng'ali ewa Senabulya, era nga basanyufu kyokka nti yeewuunyizza okuwulira nti yamwefuulidde n'amutta

. "Waliwo omwana eyabadde agenze okwetaawuluza eyalabye omulambo nga bagusonsese mu kinnya kya kaabuyonjo, naye ng'omutwe guwagamidde, bwatyo n'atemya ku maama we eyazze n'alaba oluvannyuma n'ategeeza abatuuze,"Vanessa, bwe yategeezezza. Kigambibwa nti, taata w'omugenzi muserikale wa Poliisi ayitibwa SP Charles Opiko.

Okusinziira ku batuuze, yasooka n'ayagala omuwala ayitibwa Damalie, kyokka olwamuzaalamu omwana n'amugoba, awo n'azzaako Aroti, gwe yasse, era nga naye amulinamu omwana.

Poliisi egamba nti Senabulya, abadde ayagala Harreit Hawumba, omuyizi wa Cavendish yunivaasite kyokka okusinziira ku bubaka bwe babadde beeweereza ku ssimu, bano bombi babadde baateesa okutta Aroti, alabika ng'abadde abalemesa okweyagala obulungi. "Tulina obubaka bwe tukyetegereza ku ssimu ya Senabulya n'eya muganzi we Harriet, bwe beweerezza nga bateesa ku minsoni y'okutta Aroti,"omu ku bambega anoonyereza ku ttemu lino bwe yategeezezza.

Nga ogyeeko abantu abana abasoose okukwatibwa, waliwo abantu abalala abaakwatiddwa nga kigambibwa nti be bamu ku bayambyeko mu kusitula omulambo gw'omugenzi okugujja mu kazigo muganzi we mweyamuttidde, okumutwala ku kinnya kya kabuyonjo, mwe baagezezzaako okumusuula kyokka omutwe ne guwagamira

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssebaggala omu ku battiddwa

Abasudan ab'emmundu bawamby...

AKABINJA ka bannansi ba South Sudan ababagalidde emmundu bawambye Bannayuganda abavuga loole ezitwalayo amatooke,...

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...