
ABAYIZI ba pulayimale ate nga baaluganda basuuzizza abasajja abakulu engule mu mpaka za Hi Skool Awardz ezaabadde ku Freedom City gye buvuddeko.
Abaana bano okuli Saad Junior Lule 11, ng'ali mu P7 ne mwannyina Sytrah Nalule P6 ne Sammy Lule ng'erinnya lyabwe ery'omuziki beeyita ba "Triple S" be baawangudde.
Bano baabadde bavuganya n'abayimbi okwabadde Mesarch Semakula ku liyimba Bwagamba, B2C Alemeralemerako, Leviction I Need Repray era ng'olwabwe olwabawanguzza luyitibwa, Child Abuse nga lwawandiikibwa Branic Benzie te Writer. Abaana bano bayizi ku City Parent era nga ne ku ssomero bamanyiddwa ng'abooluganda abayimbi newankubadde yo tebayimbirayo