TOP

Mabiriizi ategese okwanika abali b'enguzi

Added 17th April 2019

Mabiriizi ategese okwanika abali b'enguzi

 Male Mabiriizi ng'annyonnyola

Male Mabiriizi ng'annyonnyola

Bya Lawrence Kizito

EYESIMBAWO kubwa Pulezidenti mu 2016, Joseph Mabiriizi avuddeyo n'ategeeza nga bwataddewo ekitabo mwagenda okuwandiika abali b'enguzi mu ggwanga.

Bino yabyogeredde mu lukiiko lwa Bannamawulire lwe yatuuzizza ku woteeri ya Pope Paul mu Ndeeba ku lw'okusatu nga April,17th,2019. Mabiriizi abadde amaze akaseera ng'asirikiridde oluvanyuma lw'okuwangulwa mu kalulu ka 2016.

Mabiriizi yategeezezza nti abantu bangi ababbye sente z'Eggwanga ne watabaawo kibakolebwako, n'agamba nti essaawa etuuse Bannayuganda baveeyo baatuulire abantu bano.

Yagambye nti ng'ali wamu ne ttiimu ye bagenda kwekeneenya emisango egizze gisalwa ku bakumpanya sente za gavumenti, amannya gaabwe bagawandiike mu kitabo kino abantu basobole okubamanya.

Yanyonyodde nti abali b'enguzi bakozesa sente ze babbye okugulirira abalonzi n'okusonda mu masinzizo abantu ne babakubira enduulu naye nga eggwanga lisigadde mu ddubi ly'obwavu.

Mabiriizi era yasinzidde wano nategeeza nga bwe yawandiikidde abakulira amaddiini n'enzikiriza ez'enjawulo mu ggwanga ng'abasaba bave mu kusirika boogere ku biruma abantu.

Yayongeddeko nti Bannaddiini balina obuvunaanyizibwa okutaasa n'okulungamya abantu ba Katonda, nga bwe basalawo okusirika babeera balidde mu Katonda olukwe.

Bwe yabuuziddwa oba aneesimbawo mu 2021, yagambye nti ajja kulangirira ng'ekiseera kituuse

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Munnamateeka wa Kyagulanyi, Sseggona (wakati) ng’awayaamu n’omuwandiisi wa NUP, , Lubongoya  (ku ddyo) ku kkooti .

Buubuno obukwakkulizo gavum...

GAVUMENTI eyagala Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) alangirire nti tagenda kwetaba mu bikolwa bya kwekalakaasa...

Abantu nga balwana okutaasa ttaanibboyi eyabadde alaalidde mu byuma.

Ensiitaano y'okutaasa ttani...

POLIISI n'abadduukirize kyabatwalidde essaawa 11nnamba okutaasa ttanibboyi Abdu Sserunjogi ebyuma by'emmotoka gwe...

Loodi Meeya Lukwago.

Lukwago anaakolagana atya n...

MUNNAMATEEKA Erias Lukwago 50 asuubirwa okulayizibwa mu wiiki esooka eya June 2021 okutandika ekisanja ekyokusatu...

Kasasiro asuulibwa mu myala ne gizibikira.

15 beesowoddeyo okugonjoola...

ABEESOWODDEYO 15, banaasobola okumalawo ebizibu ebitawaanya abantu ba Kyengera Town Councli ebiremye Abdul Kiyimba?...

Rogers Mulindwa

'Manifesito ya NRM ebyemiza...

ROGERS MULINDWA - OMWOGEZI WA NRM Nsooka okwebaza bannabyamizannyo olw'obuwagizi era njagala okubagumya nti...