TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze ekyuma ekisumulula obusimu n'osaza kimu

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze ekyuma ekisumulula obusimu n'osaza kimu

Added 17th April 2019

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze ekyuma ekisumulula obusimu n’osaza kimu

 Engatto n’ekyuma ebikozesebwa mu kuzza amasannyalaze mu mubiri.

Engatto n’ekyuma ebikozesebwa mu kuzza amasannyalaze mu mubiri.

BIO tuner' y'engatto ekozesa amasannyalaze go ag'omu mubiri okusobola okukuyamba ku ndwadde ezitali zimu. Buli muntu alina amasannyalaze mu mubiri era bw'oba okyali muto obeera n'amasannyalaze mangi ky'ova olaba bw'okwata ku mwana yeesika oba okuseka ennyo kubanga amasannyalaze ge gaba waggulu, naye gy'okoma okukula n'amasannyalaze gye gakoma okukendeera.

Nikola Tesla nga yali mukugu mu kunoonyereza ku by'amasannyalaze mu mubiri yakizuula nti, omuntu gy'akoma okukula n'amasannyalaze okukendeera.

Abalooma bwe baakizuula nti amasannyalaze gaabwe gakendeera kwe kulinnyanga ku nsozi ne zibayamba okufuna amasannyalaze agamala ne gabawa embavu okulwana, era ne bajjajjaffe bwe baakizuula nti ebyennyanja bisitula amasannyalaze g'omuntu kwe kutandika okulinnya ku magumba ga ssemutundu ne bongeza ku masannyalaze gaabwe. Kino kitegeeza nti, enkola y'okutereeza amasannyalaze g'omubiri yava dda, wabula tugakomezzaawo okusobola okutereeza amasannyalaze g'abantu.

Wabula enkola eriwo si ya kulinnya ku magumba ga byennyanja, naye okukozesa engattoeziyamba okuzza amasannyalaze g'omubiri okuyita mu kyuma kya ‘Bio tuner'. Ekyuma kino nkola ya Mugirimaani era n'abazannyi baabwe bakikozesa okusigala nga balina embavu, nga n'omuddusi Usain Bolt naye yakozesanga engatto zino okugogola ebinywa. Engatto zino ddagala kubanga zikola bino wammanga:

1 Ziyamba omuntu asannyaladde (afunye stroke) kubanga omusaayi gubeera gukutte mu bwongo ne mu misuwa ebinywa ebiba bisannyaladde ne kibitereeza, amasannyalaze go ag'omu mubiri era ge kikozesa gennyini ebinywa ne bidda buggya.

2 Kiyamba abaana abagaana okutambula oba abaludde ne batambula kuba kigumya ebinywa.

3 Kiyamba okusumulula omusaayi mu misuwa ne gutambula bulungi kuba kiginyeenya naddala ku bantu abatuula ennyo ng'abavuga takisi oba abakola mu ofi isi.

4 Eyamba ku binywa, ogiteeka awakuluma naddala ku binywa by'amagulu ne kiggyawo obulumi.

5 Mu mbeera eno kikola ku bantu abazannya emizannyo ng'omupiira oba abaddusi naddala ku kwesiba ebinywa anti kiggyamu ekirungo kya ‘lactic acid'.

6 Kiyamba ku bantu abalina obulumi bw'amannyo ng'okiteeka ku linnyo erikuluma ne kizibukula emisuwa. Ekyuma kino era tukitunda ate n'okukukolako masaagi ku 5,000/- zokka.

7 Abantu bangi omukwano gufudde kubanga tebabeera na bwagazi olw'obusimu okufa era ekyuma kino kisumulula obusimu olwo omukwano ne gudda buggya.

8 Omukyala ayambala kakondo ebigere ne bikuluma olw'okuleega ebinywa osobola okukikozesa ne weenyiganyiga n'otereera.

9 Kiyamba okuzuukusa obusimu bw'obwongo ne bukola bulungi, okwo gattako okumalawo okukankana abamu kye bayita obuko.

10 Kikola ku balwadde ba sukaali kubanga batera okufuna obusimu okufa nga ne bw'aba alinnye ku muliro nga taguwulira ne kimuleetera okufuna amabwa. Sso ssinga okikozesa kibuzza buggya.

11 Kiyamba ku bantu ekyenda nga tekikuba bulungi mmere ng'okiteeka ku lubuto ne kirunyenya olwo ekyenda ne kitandika okukuba emmere n'okwokya amasavu g'olubuto. 12 Kiyamba abalwadde b'omugongo ate era ne kiyamba ne ku magumba agaseeseetuka. Kiyamba ne ku balina abaserikale abali wansi ne beeyongera.

13 Bw'omira eddagala kiriyamba okusaasaana mu mubiri ssinga okozesa ekyuma kino omusaayi ne gutambula bulungi mu misuwa. Julius Nyanzi owa Prof Bioresearch asangibwa ku Equatorial Mall edduuka nnamba 152 mu Kampala. Mufune ku 0702061652 / 0779519652.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Loodi Meeya Erias Lukwago ngakyazizza dayirekita wa Kampala omuggya, Dorothy Kisaka

Loodi meeya akyazzizza dayi...

  Ababiri basoose mu kafubo mu ofiisi za Loodi Meeya okumala essaawa bbiri nga bateesa. Lukwago yamwanjulidde...

Gav't etandise okugabira Ba...

GAVUMENTI etandise okugabira Bannakampala masiki eziyamba okutangira ssenyiga omukambwe kyokka abamu ku ba LC abaazikwasiddwa...

Kazinda ng'aleeteddwa mu kkooti

Kazinda ayolekedde okuyimbu...

EYALI omubalirizi omukulu mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda Geoffrey Kazinda ayolekedde okuyimbulwa mu kkomera e...

Kitatta ng'ali mu kaguli ka kkooti

Abudallah Kitatta ayimbuddw...

Hajji Abudallah Kitatta eyali omuyima wa bodaboda 2010 ayimbuddwa okuva mu kkomera gy'amaze emyaka 3.

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...