TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Basimattuse akabenje k'emimotoka kya kasasiro ekiremeddwa okusiba

Basimattuse akabenje k'emimotoka kya kasasiro ekiremeddwa okusiba

Added 17th April 2019

WAABADDEWO akasattiro ekimotoka kya kasasiro bwe kyalemeredde omugoba waakyo ne kyagala okuyingirira emmotoka endala ku luguudo lw’e Mpereerwe.

 Abantu nga bakuhhaanye okulaba ekimotoka ekyagudde mu mwala e Mpereerwe.

Abantu nga bakuhhaanye okulaba ekimotoka ekyagudde mu mwala e Mpereerwe.

WAABADDEWO akasattiro ekimotoka kya kasasiro bwe kyalemeredde omugoba waakyo ne kyagala okuyingirira emmotoka endala ku luguudo lw'e Mpereerwe.

Ekimotoka kino nnamba UAP 664B kyalemeredde ddereeva naye eyakibuuseemu ku kkubo eridda e Kawempe -Ttula kyokka oluvannyuma kyagudde mu luwonko.

Jane Namusoke omu ku baabaddewo yagambye nti kyavudde ku luguudo lwa Kiteezi ku ssaawa nga 7:00 ez'emisana nga kiri ku sipiidi kyokka ne kigaana okusiba.

Ddereeva yakubye ehhombe ey'okumukumu n'abantu ne bakuba enduulu era abaakirabye beetegudde ne badduka ne kiyingira oluguudo n'akiweta ng'akizza ku ludda e Kampala.

Ddereeva yabuuseemu oluvannyuma n'akireka nga kiyiringita kyokka ne kiyita mu maaso ga super market ne kigwa mu luwonko ku mabbali g'oluguudo.

Mu maaso gaakyo waabaddewo takisi eyabadde eggyamu abasaabaze kyokka nga baawonye okubatuukako.

Abaserikale baaleese kasiringi eyakisiseeyo ne bakitwala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embeera y'amasiro nga bwegali mu kiseera kino

Omuwanika wa Buganda Waggwa...

OMUMYUKA ow’okubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda,Robert Waggwa Nsibirwa bwe yabadde asoma embalirira...

Abakozi abakolera mu Owino balaajanidde Gavumenti ku mmaali yaabwe

Abakolera mu Owino balaajan...

ABASUUBUZI abakolera mu katale ka St.Balikudembe balaze obutali bumativu olw'abeebyokwerinda okubagaana okutaasa...

Eyafumitiddwa ebiso nga bw'afaanana

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Nnamwandu Sarah Nassiwa ng'akungubagira bba

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Ronald Kyobe ng'alaga emmwanyi ze. Ebifaananyi bya Ssennabulya Baagalayina

Abalimi b'emmwanyi e Lwaben...

ABALIMI b'emmwanyi mu ggombolola y'e Lwabenge e Kalungu kwe basinzidde okusaba Gavumenti nti tekoma kubakunga wazira...