
Mulemba eyakwatiddwa
Kigambibwa nti Livingstone Mulemba 28, abadde ateebereza muganzi we Betty Fumba okuba ng'abadde yaddira omusajja eyamuzaalamu omwana ne baawukana.
Omusajja ono abadde yadduka ku kyalo oluvannyuma lw'okufunyisa Fumba olubuto n'atya okumusiba olw'obutaba na busobozi bumulabirira kyokka olwakitegedde nti, Fumba yafuna omusajja omulala kwe kukomawo ku kyalo.
Fumba abadde alina omwana omuwala nga wa myaka ebiri.Kigambibwa nti, Mulemba abadde atuula bufoofofo nga yeekengera taata w'omwana kwe kutandika okumuwondera buli gy'abadde agenda.
Yagwikirizza Fumba mu kisaalu gye yabadde agenze okulima n'amukuba enkumbi ku mutwe oluvannyuma omulambo n'aguwalula n'aguteeka mu kisaalu. Omugenzi yabadde ne mutabani wa muganda we ategeerekeseeko erya Ayasi Mutalya 15, gwe yagenze naye mu nnimiro.
Mulemba yasoose kubuzaabuza Mutalya n'amutuma agedde awaka anono enkumbi abayambeko okulima kyokka yagenze okudda nga bombi tabalabako n'alowooza nti bandiba nga baliko we bagenze.
Okusinziira ku ssentebe wa LC1 owa Kibwiza, Aggrey Mulemba yategeezezza nti omugenzi yasemba okumulaba ku Lwomukaaga. Okuva olwo babadde babuuza omusajja amayitire ga mukazi we gwe yaganza mu October wa 2018 nga yeebuzaabuza.
Omulambo gw'omugenzi gwalabiddwa abalimira okumpi n'ekisaalu nga baasoose kuwulira kivundu ne bakigoberera ne basanga nga Fumba yattibwa.
Akulira bambega ba polisi e Kaliro, Kenneth Namanda akakasizza ettemu lino n'ategeeza n'gamba nti, omulambo baagukwasizza abooluganda okuguziika.
Omugenzi baamusanzeemu ekiti nga bakisonsese mu mbugo era nga kiteberezebwa nga Mulemba yasoose kumwebakako n'oluvannyuma n'amutta kubanga engoye z'omugenzi z'alaze nga yakozesebwa.
Poliisi yakoze omuyiggo n'ekwata Mulemba asangiddwa mu bikajjo gye yabadde yeekukumye era nga waakuvunaanibwa omusango gw'obutemo.