TOP
  • Home
  • Agebwelu
  • Amagye gakutte basajja ba Bashir abalala ne baggalirwa mu buduukulu

Amagye gakutte basajja ba Bashir abalala ne baggalirwa mu buduukulu

Added 18th April 2019

Bannamagye bongedde okukambuwala ng’ennumba bwe bongedde amaanyi mu kukwata ababadde abanene mu Gavumenti ya Bashir naye ali mu nkomyo.

Abadde minisita wa Bashir avunaanyizibwa ku nsonga z'omunda mu ggwanga, Abdelrahim Mohamed Hussein ne Ahmed Haroun eyakulemberako ekibiina kya 'National Congress Party' baggaliddwa.

Amawulire ga CNN gaategeezezza nti abakwate basuubirwa okuggulwako emisango gy'okulya enguzi n'okuvaako okufa kw'abeekalakaasi.

Abakwate nga bali wamu n'abadde mukama waabwe Bashir bonna baliko ekibaluwa ki bakuntumye ekyabayisibwako Kkooti Y'ensi yonna olw'ebikolobero bye bazza bakola mu kitundu kye Darfur.

UGANDA ENAABUDAMYA BASHIR

Minisita omubeezi ow'ensonga z'ebweru w'eggwanga, Henry Okello Oryem yagambye nti singa Uganda esabibwa okubudamya abadde Pulezidenti wa Sudan, Omar el-Bashir bajja kukkiriza.

Yategeezezza nti Bashir alina ebirungi bingi by'azze akola naddala okulafuubana okulaba ng'emirembe giddamu okubukala mu South Sudan.

Bashir eyawambiddwa amagye yeetaagibwa Kkooti y'Ensi yonna avunaanibwe emisango egyekuusa ku kittabantu n'olutalo olwali mu kitundu kye Darfur.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Arrizabalaga

Arrizabalaga takyayala mu C...

Abawagizi ba Chelsea bali mu ssaala nti Atletico Madrid ebawonya ggoolokipa Kepa Arrizabalaga.

Ttiimu za Premier zeesunga ...

Abakulira Premier basazeewo akatale k’abazannyi katandike nga July 27, ku lunaku oluddirira olunaaggalirwako liigi...

Minisita Aceng

Minisita Aceng agaanye okwe...

MINISITA w’ebyobulamu Dr. Jane Ruth Aceng agambye nti tasobola kwetonda olw’akatambi akaafuluma ng’akungaanyizza...

Mbuga ne Vivian

Ebya SK Mbuga ne mukyala we...

JALIA Vivian Mbuga yasoose kuvaayo ng’ayita ku mukutu gwe ogwa Face book n’avumirira ebikolwa by’obutabanguko mu...

Obutungulu busobola okukugg...

GWE abadde alowooza nti obwavu bwakwesibako era nga n’olumu weeyita mwavu, okukaaba kwo kukomye anti obutungulu...