TOP

Bannamagye balambudde pulojekiti za KCCA

Added 18th April 2019

BANNAMAGYE ku madaala agaawagulu balambudde pulojekiti za KCCA ez’enjawulo omubadde n’ekisenge ekirimu kkamera ezikuuma ekibuga Kampala okulaba engeri gye zikolamu.

Baasoose kusisinkana akola nga dayirekita wa Kampala, Andrew Kitaka abadde n'omumyuka we Samuel Sserunkuuma, akulira okutegekera ekibuga Moses Atwine n'abalala mu City Hall.

Bannamagye baabuuzizza ku ngeri KCCA gy'ekolamu emirimu gyaayo naddala akalippagano k'ebidduka, enkaayana z'ettaka engeri gye zigonjolwamu ate n'enkulaakulana eriwo mu kibuga basobodde batya okugituukako.

Kitaka yabasomesezza olugendo KCCA lw'ezze etambula n'abategeeza nti ku kalippagano k'ebidduka mu kibuga bakozesa kkamera okukamalawo.

"Tusobola okulaba amasang'anzira 13 mwe tutadde kkamera nga tukozesa abakugu baffe wano mu KCCA.

Tulina abantu baffe abalina empuliziganya ku nguudo ezenjawulo era kati tusobola okulaba ekifo awakutte obulippagano obunene ne tukolagana n'abaserikale ku nguudo ne tubumalawo," Kitaka bwe yagambye.

Ku ttaka n'okutegekera Kampala, Moses Atwine yabategeezezza nti KCCA yayimiriza okuwa omugagga yenna pulaani alina poloti esangibwa mu lutobazzi.

"Poloti ezirina ebyapa ebyalangibwa mu mawulire nti biri mu lutobazzi bisazibwemu twabissaako ekkomo tewali kubiwa pulaani.

Tukolera wamu ne NEMA era ensonga tuzikute bulungi," Atwine bwe yagambye.

Atwine yategeezezza nti wadde Gavumenti eyinza okuba nga ye yalanga poloti ezo naye KCCCA ye yasaawo akazito.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Basindikiddwa mu kkomera lw...

ABAASANGIBWA n’ebyambalo bya UPDF basindikiddwa mu kkomera.

Abaleppuka n'ogwokulya mu n...

KKOOTI yamagye e Makindye yejjeerezza abajaasi bataano ababadde bavunaanibwa okukola olukwe okuvuunika gavument...

Nuwashaba (ku kkono) lwe baamultwala ku kkooti okukola siteetimenti. Ku ddyo ye mwana Kyamagero eyattiddwa

Nuwashaba alaze bwe yafuna ...

OMUSAJJA gwe baakutte n’omutwe ku Palamenti ayogedde engeri gye yaweebwa ddiiru y’okusala omutwe gw’omwana n’alumiriza...

Nagirinya eyattibwa

Nagirinya: Ffayiro ye efuus...

OMULIRO ogwayokezza ofiisi y’akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango e Katwe, gukyatabudde abantu olw’engeri...

Nagirinya: Ffayiro ye efuus...

OMULIRO ogwayokezza ofiisi y’akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango e Katwe, gukyatabudde abantu olw’engeri...