TOP

Omukulu w'ettendekero awonye okwokebwa abayizi

Added 18th April 2019

POLIISI yeezoobye n’abayizi b’ettendekero lya Katonga Technical Insititute ababadde bagezaako okwokya akulira ettendekero mu ofiisi ye lwa kubamma byava mu bigezo byabwe n’okubasuza ku ttaka ng’ate baasasula ebisale byonna.

 Abayizi abeegugunze nga poliisi egezaako okubakkakkanya. Wakati ye Hajji Sseggane gwe baataasizza.

Abayizi abeegugunze nga poliisi egezaako okubakkakkanya. Wakati ye Hajji Sseggane gwe baataasizza.

POLIISI yeezoobye n'abayizi b'ettendekero lya Katonga Technical Insititute ababadde bagezaako okwokya akulira ettendekero  mu ofiisi ye lwa kubamma byava mu bigezo byabwe n'okubasuza ku ttaka ng'ate baasasula ebisale byonna.

Poliisi y'e Kayabwe n'eye Mpigibe basanze ng'abayizi bano bapakidde enku mu mulyango gwa ofiisi ya Principal w'ettendekero lino, Hajji Sulaiman Sseggane nga bagezaako okujiteekera omuliro ne ofiisi y'avunaanyizibwa ku by'ensimbi (Baasa) n'ekuba amasasi mu bbanga okubagumbulula.

Oluvannyuma omuduumizi wa poliisi mu Mpigi, Joab Wabwire atuuzizza olukung'aana lw'abayizi n'abakulira ettendekero lino, abayizi ne bamunnyonnyola ebizibu byabwe okuli okubasuza ku ttaka, obutaba na bikozesebwa ebibayambako okubabangula n'obutabawo bivudde mu bigezo byabwe.

Wano DPC Wabwire akakkanyizza abayizi bano era nanenya abaddukanya ettendekero obutawuliriza bizibu bya bayizi ekiyinza okuvaako obutali butebenkevu. Asabye Hajji Sseggane okukola ku nsonga z'abayizi embeera edde mu nteeko.

Haji Sseggane ategeezezza nti wadde ng'embeera y'abayizi teyeeyagaza naye nabo tebanasasula bisale bya ssomero era n'abagumya nti ebyava mu bigezo byakukolwako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...

Bannayuganda muve mu tulo -...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okuva mu ttulo bataandike okusala amagezi g’okunoonya obuggagga n’asaba...

Gavana Mutebile

COVID19 ayigirizza Bannayug...

GAVANA wa bbanka enkulu Tumusiime Mutebile agambye nti Bannayuganda bagenda kukendeeza ku kumala gasasaanya nsimbi...