TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bbaasi ya Watoto ekoze akabenje n'erumya abaana 50

Bbaasi ya Watoto ekoze akabenje n'erumya abaana 50

Added 18th April 2019

BBAASI ya Watoto ebadde ettise abaana abasoba mu 50 nga bagenda okusaba egudde ku kabenje ku luguudo lw’e Masaka abaana 27 ne bamenyeka n’okufuna ebisago ebyamaanyi abalala ne balumizibwa. Bbaasi eno ya baana ab’ekifo ekikuumirwamu abaana abatalina mwasirizi ekya Watoto e Nakirebe mu Mpigi. Ebadde egenda Kampala ku kkanisa ya Watoto ku Lwokuna ku makya mu kkoona ly’e Nsimbi ku lw’e Masaka n’egwa ne yeefuula okukkakkana ng’abaana 27 bamenyese n’okufuna ebisago ebyamaanyi.

BBAASI ya Watoto ebadde ettise abaana abasoba mu 50 nga bagenda okusaba egudde ku kabenje ku luguudo lw'e Masaka abaana 27 ne bamenyeka n'okufuna ebisago ebyamaanyi abalala ne balumizibwa.

Bbaasi eno ya baana ab'ekifo ekikuumirwamu abaana abatalina mwasirizi ekya Watoto e Nakirebe mu Mpigi. Ebadde egenda Kampala ku kkanisa ya Watoto ku Lwokuna ku makya mu kkoona ly'e Nsimbi ku lw'e Masaka n'egwa ne yeefuula okukkakkana ng'abaana 27 bamenyese n'okufuna ebisago ebyamaanyi.

Bbaasi eno nnamba UAQ 389Z eremeredde ddereeva waayo Emmanuel Sekabira n'atomera omukutu ogutwala mukoka olwo n'egwa ne yeefuula era abaana bonna abaagibaddemu 50 ne bakosebwa.

 

 akayima yamenyese omukono ngali mu bulumi Nakayima yamenyese omukono ng'ali mu bulumi

 

 

Okusinziira ku batuuze ababaddewo nga bbaasi eno egwa baategeezezza nti, yatagadde n'eva ku ludda kw'erina okubeera n'erumba mmotoka ezibadde ziva e Kampala olwo n'erumba essundiro ly'amafuta erya Gasline olwo n'egwa mu mwalo ne yeefuula.

Poliisi n'abasawo b'eddwaaliro lya Watoto baaleese ambyulensi ne baggyawo abaalumiziddwa ne batwalibwa mu ddwaaliro lya Baby Watoto Health Centre gye baggyiddwa ne babongerayo ku ddwaaliro lya Case Clinic e Kampala.

Ku baalumiziddwa ennyo kuliko; Catherine Mutesi, Patricia Acen, Mouren Katono, Arthur Mubiru, Christian Ssekaayi, Emma SSekabira, Agatha Mirembe, Cathy Kisakye, Owen Mugisha, Fortunate Namara, Andrew Kimbugwe, Fortunate Namazzi, Godon Otimigugin, Yvonne Nakayima n'abalal.

Omuduumizi wa poliisi y'ebidduka mu Katonga Angeyo agambye nti akabenje kaavudde ku ddereeva okuvugisa ekimama mu kkoona ng'ate attise nnyo era n'alabula baddereeva okwegendereza ekkoona lino.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.